Omupangisa atunze ennyumba ya ssentebe n'adduka ku kyalo

Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy’abadde yamupangisa era olumaze n’asibamu ebibye n’abulawo. Omupangisa abadde mukulembeze ku kitundu nga kigambibwa nti ye n’abakulembeze abalala batunze n’amayumba g’abantu abawerako nga kati ekyalo kiri mu kasattiro.

Batwala ng’alaga ennyumba ye eyatundiddwa.

Bya Ivan Lubega                                                                                                                                                                                         Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy'abadde yamupangisa era olumaze n'asibamu ebibye n'abulawo. Omupangisa abadde mukulembeze ku kitundu nga kigambibwa nti ye n'abakulembeze abalala batunze n'amayumba g'abantu abawerako nga kati ekyalo kiri mu kasattiro.

Bino biri ku kyalo Up Land e Mpumudde mu Jinja. Abatuuze bagamba nti baludde nga babeera mu nnyumba zino eza Jinja City Council era gye buvuddeko council yayisa ekiragiro abatuuze okwegula nabo kye babadde baakola. Bano baategeezezza nti bazze basaba ebyapa wabula ng'abakulu bababuzaabuza okutuusa lwe baafunye amawulire nti amayumba gaabwe gatundiddwa.

Mu baakoseddwa mulimu ssentebe wa disitulikiti y'e Jinja omulonde, Moses Batwala agamba nti ennyumba ze bbiri zaatundiddwa. Batwala yalambuzza omusasi ono emu ku nnyumba ze n'alumiriza amyuka ssentebe w'eggombolola ya Mpumudde - Kimaka mu kibuga Jinja, Phoebe Biribawa abadde omupangisa we okugitunda era olwamaze n'asibamu ebibye.

Batwala agamba nti abakulembeze mu kitundu abaakulembeddwamu ssentebe w'eggombolola, William Ebusa n'abaakakiiko k'ettaka (Erea Land Committee) be beekobaana ne batunda abatuuze. Ono agamba nti yagenze mu ofiisi y'ebyettaka gye yasanze nga waliwo ebyapa ebikolebwa ku ttaka lino.

"Nakizudde ng'abakulembeze Omupangisa atunze ennyumba ya ssentebe n'adduka ku kyalo b'eggombolola ya Mpumudde Kimaka bakubisizza ebyapa ku ttaka lyange n'abatuuze abalala, bino baabitadde mu mannya g'abaana baabwe ne mikwano gyabwe era nakitegeddeko nti batunze," Batwala bwe yategeezezza.

Biribawa ng'ali ku ssimu yeegaanyi eby'okutunda abantu. "Munnamawulire nze Biribawa Pheobe, abantu abo bakulage ebyapa bye nateekako omukono tulyoke twogere," bwe yagambye. Abatuuze bawanjagidde abakulu naddala minisita w'ebyettaka, Persis Namuganza, Lt. Col. Edith Nakalema okubayamba.

Daudi Musenze akulira olukiiko lw'ebyettaka e Jinja asabye abatuuze okutwalayo okwemulugunya kwabwe mu butongole era asuubizza okusazaamu ebyapa ebikolebwa ku ttaka lino singa abatuuze banaakakasa nti be bannannyini abatuufu.