Kluthum ayogedde ku katambi akaabatabula ne Sheikh Muzaata

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’ Kluthum yakkirizza bw’amanyi ku by’akatambi akasaasaanye ku mikutu gya ‘social media’ kyokka eby’okulaga ng’abaalina enkolagana ey’enjawulo ne Umar hawusibooyi gwe yali ayogera naye n’abyegaana.

Kluthum

Bya BYA JOSEPHAT SSEGUYA NE ROSEMARY NAKALIRI                                                                                                   MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.' Kluthum yakkirizza bw'amanyi ku by'akatambi akasaasaanye ku mikutu gya ‘social media' kyokka eby'okulaga ng'abaalina enkolagana ey'enjawulo ne Umar hawusibooyi gwe yali ayogera naye n'abyegaana.

Omugenzi Sheikh Muzaata.

Akatambi kano kaasaasaanye ku ntandikwa ya wiiki eno. Kalimu eddoboozi ly'omukyala agambibwa okuba Kluthum ng'ayogera n'omusajja gw'alaga nti muyambi w'awaka kubanga ne bye boogerako biraga embeera z'awaka wakati wa bboosi n'omukozi we.

Kluthum yategeezezza Bukedde nti akatambi ako kaaliwo dda nga ne Sheikh Muzaata we yafiira ensonga baali baatuula ne bazigonjoola ne biggwa. Yagambye nti, abamulwana beeyambisa amaloboozi gano okumuggya ku mulamwa naye agamba ebyo tebisola kumulemesa kubanga n'abatambuza akatambi ako baalemwa okukatambuza nga Muzaata tannafa.

Mu katambi kano, mulimu amaloboozi ga Umar ng'ategeeza gwe yali ayogera naye embeera eyali awaka oluvannyuma lw'okunoba. Ekimu ku byewuunyisa y'engeri Umar gye yali asaba okukyalako Kluthum gye yali anobedde wabula n'amugamba aleme kukikola amangu ago nga kiyinza okuleetera Sheikh okumanya mukyalawe gy'ali so ng'abadde tamanyiiyo.

Eky'akagoye ak'obukono Kluthum ke yali yeerabidde nako koogeza bangi naddala bwe yamugamba nti ye (Umar) akagoye ako akaagala nnyo. Wano Kluthum we yava okugamba Umar nti ye okugenda gy'ali waakiri ye (Kluthum) yeesitula ne basisinkana mu kibuga okusinga gye yali.

Mu kunnyonnyola ku katambi, Kluthum yayongeddeko nti bba, Muzaata ye yandivuddeyo n'akakasa ensi nti bino byali bipange kubanga naye yabimanya nti Umar eyakwata amaloboozi ago yali ayagala kubiraga Muzaata amuggyemu ssente