Emivuyo mu masomero gisusse - Ab'e Busujju

ABATUUZE mu ggombolola y’e Maanyi mu Ssaza ly’e Busujju baloopedde abakulembeze ba disitulikiti enkaayana n’emivuyo ebiri mu masomero naddala ag’obwannannyini nga bagamba nti zandigootaanya ebyenjigiriza.Bya Luke Kagiri

ABATUUZE mu ggombolola y’e Maanyi mu Ssaza ly’e Busujju baloopedde abakulembeze ba disitulikiti enkaayana n’emivuyo ebiri mu masomero naddala ag’obwannannyini nga bagamba nti zandigootaanya ebyenjigiriza.

Ku ssomero lya Ggulwe Umea, gye buvuddeko abazadde baalumbye alikulira ne bamulagira ave mu ofiisi nga bagamba nti  azing’amizza emirimu gy’essomero, era abakulembeze ba disitulikiti kwe kusalawo okumuyimiriza.

Ate ku ssomero lya Kivvuvu Preparatory, abazadde baayise abakulembeze ba ggombolola ne babaloopera nga bwe waliwo abakaayanira ettaka okuli essomero lino, kye baagambye nti kyandirizza emabega.

Mu lukung’aana luno abatuuze baategeezezza ssentebe wa ggombolola y’e Maanyi, Leonard Ntambi Batte, nga bwe baludde nga balwanirira essomero lino yadde nga lya bwannannyini.

Essomero mu kiseera kino liri mu mikono gya Asuman Nkolo ng’agamba nti abaalimuguza bamwefuulidde baagala kulyezza, kyokka nga basinga kwagala ttaka.

Ate abakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mubende batandise ebikwekweto okufuuza abasomesa ab’empewo n’abatalina biwandiiko.

Akulira ebyenjigiriza e Mube-nde, Benson Kayiwa yategeezezza nti kino baakikoze okuzuula abasomesa ab’empewo.

 

Emivuyo mu masomero gisusse - Ab’e Busujju