Basonze ettoffaali lya bukadde 100 e Rakai

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga yayaniriziddwa mu kitiibwa mu disitulikiti y’e Rakai gye yagenze okukung’aanya ettofaali ly’okuzzaawo Amasiro ge Kasubi mu kaweefube gw’aliko okwetoloola Buganda ng’asonda ensimbi zino.



Bya Johnbosco Mulyowa
KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga yayaniriziddwa mu kitiibwa mu disitulikiti y’e
Rakai gye yagenze okukung’aanya ettofaali ly’okuzzaawo Amasiro ge Kasubi mu kaweefube
gw’aliko okwetoloola Buganda ng’asonda ensimbi zino.

Katikkiro mu Rakai yatuuseemu essaawa 4:00 n’ayanirizibwa mu kabuga k’e Lwanda awali ensalo
ya Kooki ne Buddu.

Yayaniriziddwa abaana b’amasomero n’abakungu ba Kooki ababadde bakulembeddwaamu Katikiro Muky. Gertrude Ssebugwaawo n’abakungu ba disitulikiti abaakulembeddwaamu Robert Benon Mugabi ssentebe wa Rakai.

Baagenze butereevu ku mbuga y’essaza e Kooki awali ekitebe kya disitulikiti era wano abakungu ab’enjawulo we baataandikidde okuwaayo etoffaali wakati mu kusanyusibwa kkwaya z’abayizi b’amasomero.

Wano ne Katikkiro wa Kooki Muky. Ssebuggwaawo we yaweereddeyo ente bbiri ng’emu ya ttoffaali ate endala makula ga Kabaka.

Oluvannyuma Katikkiro yayolekedde Kyotera gye yayaniriziddwa Pokino Vincent Mayiga
n’abakungu abalala abaabadde bakulembeddwaamu Looya Cissy Nantongo n’abakungu ba
disitulikiti.

Yatwaliddwa butereevu mu paaka y’e Kyotera awategekeddwa okusonda ensimbi era
gye byakidde ng’obukadde 100 bwe busondeddwa mu mpeke okuva mu Rakai.

Katikkiro ng’ayogerako eri abantu, yasiimye enyaniriza gye bamwaanirizaamu mu Rakai
n’asiima n’ettofaali lye yagambye nti kyamususseeko okuweza obukadde 100 be ddu!

Yalabudde abaganda okukomya okwekubagizanga buli kiseera nga bejjukiza ebye 1966 Obote we yalumbira Obuganda n’agamba nti bino babiveeko bakole nnyo okwegobako olukokobe lw’obwavu kuba kino kye yalabye ne mu Ankole.

Abantu bangi baawaddeyo ettoffaali omwabadde abasuubuzi e Rakai okwabadde ne Evinaali Ssendi owe Kyotera eyawaddeyo obukadde buna, Dr. Kigozi owa Rakai Project ettofaali lya bukadde butaano ne bannabyabufuzi nga omubaka Kasolo, Ssentebe Mugabi ne Muky. Kabanda eyawaddeyo obukadde bubiri.

Basonze ettoffaali lya bukadde 100 e Rakai