'Nze nnasooka okusitula Omulangira Mutebi nga baakamuzaala'

OMUMBEJJA Beatrice Juliana Muggale Kisingiri 95, ye mwana wa Ssekabaka Daudi Chwa II asigaddewo ku nsi. Yazaalibwa July 31, 1929.

Bya ANTHONY SSEMPEREZA

OMUMBEJJA Beatrice Juliana Muggale Kisingiri 95, ye mwana wa Ssekabaka Daudi Chwa II asigaddewo ku nsi. Yazaalibwa July 31, 1929.

Ono era ye ssenga wa Kabaka Ronald Mutebi II. Agamba nti yaliwo nga Kabaka azaalibwa mu ddwaaliro e Mulago nti era ye yasooka okukwata ku Mulangira Mutebi nga yaakatonnya mu nsi.

OLUNAKU LUNO ALWOGERAKO BW’ATI:
Kitange ye Ssekabaka Daudi Chwa II, ate maama ye Sarah Naka¬solya nga yatuzaala abaana bataano ewa kitaffe, naye bonna baazaama. Nnazaalirwa Kanyanya ewa Nabikande Baagalayaze.

Nakulira mu Lubiri e Mmengo ne baganda bange bonna era kitaffe yatwagala nnyo. Mu Lubiri, twali abaana bangi, kubanga ffenna kitaffe yatukuliza wamu.

Kabaka ne ssengaawe Beatrice Muggale.

NTANDIKA OKUSOMA
Natwalibwa e Gayaza okusoma kubanga kitaffe yayagala nnyo essomero lino, n’essomero lya Stella Maris Nsuube. Eno Abambejja abasinga gye baasomeranga n’abaana b’abaami, kyokka bo Abalangira yabatwalanga mu King's College Budo ne St. Henry’s Kitovu.

E Gayaza, Abazungu abaatusomesanga nga tebatutiitiibya kubanga twasomanga n’abaana abalala, kyokka nga tosobola kwawulamu nti ono Mumbejja, ffenna nga batuyisa kimu.

Waalingayo akasenge ke twayitanga ekkomera gye baasibiranga abaana abaabeeranga bakoze eddalu ng'omalamu wiiki nnamba!

Eno nga gye bakuleetera emmere, kyokka nga gwe basibiddeyo agenda mu kibiina n’asoma, oluvannyuma n’adda mu kasenge ke yekka bw’ati, naye w'aviirayo ng'akitegeddemu era bangi beewalanga nnyo okusobya nga batya akasenge.

Mu kasenge kano nange nzijukira bansibiramu, kyokka sijjukira kye nnali nkoze.

NNYINGIRA OBUSAWO
Bwe nnamalako Gayaza mu S3 baatusaba buli omu okulondawo ky'ayagala okusoma, nze nnasaba kusoma busawo.

Kyokka nnasanga obuzibu bunene, kubanga nnawakanyizibwa nnyo, nga bang’amba nti, Omumbejja asoma atya obusawo! Bamulaba batya ng’anyiga ebiwundu, oba okuzaalisa? Kyokka nze nnalemerako.

Wabula mukulu wange mu budde obwo yali afuuse Kabaka Muteesa II ono yampagira okusoma obusawo, era ye yayagala ng’ende e Bungereza gye mba mbusomera kubanga era waaliwo n’Omuzungu Margaret Bond naye yali ayagala ng’ende e Bungereza, kyokka nze nnasalawo kubusomera wano e Namirembe.

Obusawo nnabusoma era ne nkuguka mu bwannansi n’obuzaalisa. Nzijukira waliwo Omu¬zungu eyatutendekanga ng’ava Mulago ng’ayitibwa Homes.

Ono yatusindikanga mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo buli muntu n’azaalisa abakyala nga 10 mu kwegezaamu era bwe yalaba nga nkuguse ne bampa ebbaluwa ne ntandika okuzaalisa mu ddwaaliro e Mengo.

Nsooka okulaba ku mulangira Mutebi nga yaakazalibwa e Mulago. Mu lulyo Olulangira nze nnasooka okulaba Omulangira Mutebi nga yaakazaalibwa.

Nali ng’enze e Mulago okulaba muganda wange Omumbejja Ndagire eyali agenda okuzaala, kubanga yali ampise mbeewo ng’azaala anti yali akimanyi nti mmanyi eby’ekisawo.

Kyokka nnatuuka buyise olw'emirimu gye nnaliko, ng’enda okutuuka ng’Omumbejja amaze okuzaala eby'embi ng’omwana afudde!

Ennaku yajula okunzita, naye mba nfuluma bwe nti, abasawo abazaalisa e Mulago ne bampita nti, “Mumbejja, ozze kulaba Sarah Kabejja azadde omwana?”

Nnayanguwa okugenda gy'ali era nnasanga yaakakasuula bw’ati. Omwana yali munene ddala, era maama we yali akooye anti baalongoosa mulongoose. Ennaku yonna gye nnali nnina yanzigwako ate ne nfuna essanyu eppya eppitirivu mu ddakiika eyo. Ebya Katonda bizibu!

Mu ddwaaliro Kabejja yalwayo akabanga nga bamujjanjaba era bwe yasiibulwa yaliko ekifo ekyekusifu we yagenda. Oluvannyuma nnaddamu okulaba Omulangira Mutebi ng’asuumuse mu Lubiri anti nnagendangayo nnyo okubalabako.

Kyokka ffe twabanga tunyumya n’abakulu, bo nga bazannya ye ne mukulu we Dorothy Nassolo, Sarah Kagere n’abalala nga bazannya wabula ye Mutebi yayagalanga nnyo okusamba akapiira.

ENTANDA GYE MMUSIBIRIRA
Nsaba mutabani wange ono Kabaka Mutebi asabe Katonda amwongere okugenda mu maaso okukulembera obulungi Obuganda, akumeekume Abaganda babe bumu ebbanga lyonna ate nga beerufu mu byonna.

Yeekwase nnyo Katonda nga jjaajjaawe Muteesa I eyayita abasomi ne baleeta eddiini naye anywerere ku ddiini.

‘Nze nnasooka okusitula Omulangira Mutebi nga baakamuzaala’