Eyali Katikkiro, Dan Muliika akubye ebituli mu liizi ya Kyapa mu ngalo: Minzaani ekozesebwa ku liizi egudde olubege

EYALIKO Katikkiro wa Buganda, Dan Muliika alabudde ku nkola ya Mmengo ey’Ekyapa mu ngalo n’agamba nti etadde Abaganda bannakabala n’abagwira abaguze kuno ebibanja kyokka nga balina ettaka ewaabwe gye bava mu luse lumu.Yayogedde ne SARAH ZAWEDDE.

 Dan Muliika

KIZIBU okwogera ku liizi eya Kyapa mu ngalo kubanga nagenze mu kakiiko k’ebyettaka e Mmengo bampe ku ffoomu ya liizi ndabe bw’ejjuzibwamu oba nange nsobola okugifuna ne baηηamba nti teriiyo!

Liizi ebeera kontulakiti wakati wa nnannyini ttaka n’omuntu agifuna. Liizi za njawulo era buli muntu abeera n’obukodyo bwe bw’ayinza okuteeka mu liizi okusinzira ku kigendererwa .

Liizi eyinza okubeera ennungi oba embi okusinziira ku ngeri gy’ebagiddwaamu ate nnannyini liizi waddembe okugizza obuggya oba okugaana.

Zibeeramu obukwakkulizo obwetaagisa okumala okwekenneenya nga tonnaba kugiteekako mukono.

Liizi gye bakolera Mehta eyinza okuba nga tefaanagana gye bakukoledde mu kaseera kano.

Noolwekyo Mmengo obutayombagana na bantu twandibadde tusooka okutegeera liizi eno.

Kyandibadde kirungi oweekibanja agenda okufuna liizi eno okusooka okumanya ebiri emabega waayo.

Okwewala entalo, Mmengo liizi egisse mu lujjudde bagirage abantu bw’efaanana, bagisomese abantu bagitegeere.

Liizi eno tegoberedde nnono n’obulombolombo bwa Buganda.

Yandibadde esooka mu Lukiiko n’ekubaganyizibwako ebirowoozo kubanga lutuulibwamu abantu ab’enjawulo abakiikirira Buganda oluvannyuma kabinenti n’ekyogerako .

Abaleese enkola eno tebeebuuzizza ku bantu baabulijjo bannanyini ttaka ku nsonga eno ekitegeeza nti nabo basigala mu bbanga .

Nsaba Katikkiro aleme kugoberera nkola ya gavumenti ya wakati egaana abantu baabulijjo okwogera ku nsonga zino.

Abantu bano buli lwe boogera ku bukyamu n’obulungi obuli mu nkola ya Kyapa mu ngalo kibeera kikendeeza obuzibu Katikkiro bw’atuddeko.

Katikkiro mmwebaza kubanga afubye okuwandiisa ebibanja byaffe twewale enkaayana ezibaddewo naye tekitegeeza nti omuntu bw’awandiisibwa ayingira butereevu mu nkola ya liizi.

EBIZIBU KU TTAKA

Ebireese obuzibu ku ttaka mu Uganda biwerako naye ekisooka bwe butabeerawo nteekateeka nnuηηamu ekwata ku byettaka mu gavumenti eya wakati ate ng’erabika yabuutikira gavumenti ezeebitundu ezaali zimanyi ku nkola y’ettaka.

Bangi okwogera ku ttaka balyogerako lwa Buganda. Ng’Abazungu tebannajja mu Buganda, ettaka lyakulemberwanga Kabaka nga ye muyima.

Mu Buganda bwe twogera ku Kabaka tetutegeeza muntu alimu nga Mutebi, wabula tutegeeza Obwakabaka. Mu lulimi olutuufu, Kabaka yabeeranga omuyima wa byonna kubanga n’abantu tuli ba Kabaka, ettaka n’ebintu byonna.

Ettaka erisinga lyateekebwanga mu bika wabula nga mulimu ery’ennono nga bw’owulira nti Obuganda bwaliwanga Amasiro, abakungu abalabirira Obwakabaka n’ebirala.

Omuzungu bwe yajja n’atuyigiriza okupima ettaka tusobole okulibala mu sikweya mayiro. Era mu ndagaano ya 1900 ekyo kyakolebwa.

Sikweya Mayiro 8000 lyagabanyizibwa abakungu nga Bakatikkiro, sikweya mayiro 350 za lusuku lwa Kabaka nga mwalimu eza bannaalinnya.

Wabula sikweya mayiro 9000 zaakwasibwa Gavana azikuume ku lw’abantu.

Ettaka bwe lyagabibwa mu 1900, lyaleetawo endooliito kubanga abantu bonna tebaafuna ttaka. Kino kye kyavaako okuteekawo etteeka ly’ettaka mu 1928.

Kye kyavaako okuleeta ekintu kye bayita ekibanja. Ekibanja kyava mu mbeera ya bantu abamu abataafuna ttaka . Era bannyini ttaka be baabawaayo ebibanja wabula nga basigala babanjibwa Obusuulu n’envujjo.

Ebiseera ebyo twabipimisanga luwaanyi oba omulamula era ebibanja twabikuuma era ng’omutongole amanyi bulungi omuntu w’ayita nga tetunnaba kufuna bano ababbi b’ettaka aba LC.

Okuva mu 1928 tewaddayo kubeerawo nkaayana era abamu ku bannannyini ttaka be baayitanga abasenze okutuula ku ttaka lyabwe.

EMIVUYO KU TTAKA

Omuzungu bwe yali ava wano 1961 ng’ateekateeka okutuddiza obuyinza okutuggya mu bufuge, yakomyawo ebintu byaffe byonna n’ettaka lye baali bakuuma era wano we wasibuka ekya Buganda Land Board.

Abazungu baddira abakumpanya ne babateera obukulembeze okuva ku Obote okutuuka kati.

Olw’okuba gavumenti ya wakati yalemererwa okuteekawo enteekateeka ennungi ey’okulabirira ettaka lyaffe amawanga mangi geetabise nga tebalina nteekateeka nga mu Buganda bwe bakola.

Era bano be baagendanga beesenza ku ttaka ly’omuntu erisangiddwaawo, sso ng’Omuganda nnakabala yali asooka kunoonya nnyini ttaka n’amweyanjulira.

Abantu bano balina emmundu, tebagambibwako kyokka nga gwe batiisa tolina mmundu. Kino kimu ku byongedde okutabula eby’ettaka .

Abali mu gavumenti eya wakati baateeka amateeka ku ttaka nga n’agamu gawagira okubba ettaka ly’abantu.

Okugeza, mu 1998 bassaawo etteeka nti ssinga omuntu asenga ku ttaka lyo okumala emyaka 12 nga tomugobyewo wabeera wafuuse wawe.

Kino kiringa agamba nti ssinga omuntu atwala kkooti yange n’amala nayo emyezi mukaaga nga simukutte nayo efuuka yiye. Kyannaku nti amateeka gano baagayisa mu Palamenti erina okuteeseza abantu okubaggya mu buzibu.

LIKWATIDDWA BUBI

Emitendera egyayitibwamu okukola etteeka lino mikyamu, bakola amateeka nga tebamaze kunoonyereza.

Amateeka gandibadde gakolebwa bannannyini ttaka mu bitundu. Gavumenti ya wakati yatandika mu 1962 kyokka ettaka lyaliwo okuva mu butonde.

Ekitaataaganya ebyettaka be bantu abatali Bannayuganda okuyingizibwa mu ggwanga nga bakikola mu biti bya mirundi ebiri ate ne baweebwa ettaka.

Mulimu bamusigansimbi. Bano edda Buganda yali emanyi eky’okubakolera, ffe wano bwe twawoomerwa ssukaali wa Mehta, ettaka yalipangisa emyaka egyalagaanwa.

Omuyindi oba Omuzungu nga takkirizibwa kufuna ttaka. Ennaku zino yinvesita akyayinza okusinga nnannyini ttaka obuyinza!

Ekiti ekyokubiri nga kizibu n’okumanya nti weekiri be bayittibwa Abalaalo abava mu nsi ezituliraanye ne bayiika bangi awatali abakugira.

Bava e Rwanda, D.R Congo, Tanzania ne Burundi. Beewandiisa ne bafuna endagamuntu, bawambye ettaka n’okwesenza ku bibanja by’abantu.

Okugeza e Busunju, nnamwandu w’eyaliko minisita w’ebyemizannyo Owek. Ssemugabi alwanagana n’ekibinja bwe kityo ekyagala okutwala ettaka lyabwe era ensonga ziri mu kkooti.

BANDIRIKUTTE BATYA?

Gavumenti ya wakati bwe yandyagadde okuteekawo akakiiko kagiyambe okutereeza eby’ettaka kandibadde kava mu bannanyini ttaka okuva mu bitundu 15 eby’eggwanga .

Amawanga gano 15 era galambikibwa ku mulyango gwa palamenti okuli n’obubonero bwago. Kuliko Buganda, Bunyoro, Busoga, Kigezi, Ankole, Toro, West Nile, Madi, Lango, Acholi, Teso, Karlamoja, Sebei, Bugishu ne Bukedi nga be bakola eggwanga. Bano be bandibadde bavaamu akakiiko nga bannannyini kitundu era nga be beebuuzibwako.

Kati gavumenti eya wakati etaddewo akakiiko akakulirwa omulamuzi Bamugemereirwe ku byettaka.

Gwe nalabyeyo ng’ayinza okukiikirira Buganda ye Robert Sebunya, kyokka oyo muwi wa magezi owa Pulezidenti ate nga be bantu abawubisa Pulezidenti buli kiseera. Buli ggwanga lyandibadde liweereza omuntu waalyo mu kakiiko kano.