Mwami, omwana omukulu si wuwo n'omuto wa nneyiba

ABAFUMBO baawukanye omukazi bw’akawang’amudde nti, abaana bulijjo bba b’asuuta yabazaala mu nneyiba.

 

 

 

Bya Judith Nalugwa

ABAFUMBO baawukanye omukazi bw’akawang’amudde nti, abaana bulijjo bba b’asuuta yabazaala mu nneyiba.

Omusajja naye alemeddeko n'agamba nti, ayagala taata w'abaana amuliyirire ssente ze zonna z’akozesezza ng'alabirira abaana abatali babe.

Faisal Baganzi ne Alice Nantale abatuuze b’e Konge Lower zooni babadde ku poliisi e Kabalagala nga bayomba.

Baganzi: Nazzeeyo awaka ne nsanga Nantale ng'ali mu nju ya nneyiba beesibidemu. Namuyise n’agaanirayo kyokka nneyiba n’afuluma ne mmubuuza ky’akola ne mukazi wange n’agamba nti, mukulu ky’akola akimanyi.

Bwe bagguddewo oluggi omukazi yatandise okusomba ebintu by'omunju n'abizza mu muzigo gwa nneyiba, enkeera n'agenda ku poliisi e Kabalagala n'andoopa sirabirira baana.

Nantale: Kituufu omwana omukulu si wa Baganzi. Akimanyi bulungi nti yansigula ew'omusajja omulala nga navaayo nnina olubuto lwa myezi ebiri era nnannyini mwana omukulu ye Sowedi Bogere ate omuto wa ‘neyiba’.

Akola ku nsonga zaabwe ku poliisi eno Jennipher Ndegemu agambye nti abaana bagenda kukeberwa.

Mwami, omwana omukulu si wuwo n’omuto wa nneyiba