Muto wange yafa yaakamala wiiki emu mu ddya

OBULAMU bwange wamu ne baganda bange bwakyuka kinene nnyo era ne tusigala n’ebibuuzo bingi olw’enfa ya muganda waffe eyatulema okutegeera ne gyebuli kati.Bya ALI KIZZA

OBULAMU bwange wamu ne baganda bange bwakyuka kinene nnyo era ne tusigala n’ebibuuzo bingi olw’enfa ya muganda waffe eyatulema okutegeera ne gyebuli kati.

Nze Yudaaya Nansubuga  nga mbeera mu Kinaawa mu ggombolola y’e Nsangi.  Muto wange eyali anzirako ogwokusatu, kati omugenzi Rehma Najjuka yafa nga yaakafumbirwa ng’eno yamalayo wiiki emu yokka naye n’okutuusa kati twebuuza ekyamutwala amangu atyo kikyatulemye okutegeera kuba n’emirembe tetulina olw’ebiragiro bye.

Mu December wa 2012 Najjuka yali awezezza amyaka 24 kwe kusalawo n’agamba nti ayagala kufumbirwa. Kino bwe yakitegeeza bamuzeeyi,  bassenga kwe kumufunira omusajja ow’okumuwasa era bombi baasiimagana ne batandikira awo omukwano gwabwe.

January wa 2013 omwami yakola enteekateeka n’ajja okukyala mu bakadde  n’abantu abatonotono  abaamuwerekerako era  abakadde  baamusiima ne bamukwasa muto wange  bagende batandike obufumbo.

Nga basiibula tebaawa bbanga lyakuddiramu kwanjulwa wabula baagamba bajja kusindika obubaka nga bamaze okwetereeza. Abakadde tebabaakaluubiriza kuba be baali balabye omusajja nga bamaze okutegeera nti muntu mulungi era mwesigwa.

Oluvannyuma lw’okukyala okwo muto wange yatandika obufumbo bwe mu maka ga bba ku kyalo Ng’ando  e Butambala. Baabeera bonna okumala wiiki emu Katonda n’amujjulula.

Okufa kwe

Zaali ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu nali ku woteeri yange we nkolera mu Kinaawa ne muto wange omulala, essimu n’enkubirwa. Maama ye yaliko era n’antegeeza nti Namuddu afudde.

Kino kyatukanga nnyo era kye nasooka okubuuza kiki ekimusse maama kwe kuntegeeza nga bw’asangiddwa mu buliri ku makya nga yafudde kibwatukira.

Naggalawo woteeri emmere gye nali nfumbye ne tusibako emu ne tugenda nayo endala ne tugigaba ku bbanja ne twolekera Butambala. Twatuukayo ng’omulambo baaguggye dda ewa bba nga guli waka mu ddiiro.

Twatuukira mu miranga, ne tukola ku nteekateeka zonna ez’okuziika era twaziika nkeera kuba buli kimu we kyagweera nga buzibye.  

Tukuma olumbe

Ekiro mu kukuma olumbe we twatandikira okuwulira ebigambo okuva mu bantu abaali bazze okutukungubagirako.  Baali  bagamba nti muganda waffe teyeefiiridde wabula yattiddwa mukazi nga bagamba nti omusajja ono yalina omukazi omulala gwe baali balumiriza nti ye yamusse.

Omwami waffe yali musajja musuubuzi e Kampala ng’ajja okusuubula ewaffe e Butambala era okuwasa muto waffe yali ayagadde kukola maka gaakubiri kwanguyirwa mbeera ng’azze okusuubula. 

Abantu baagamba nti waliwo abaali baawulira omukyala oli muka bbaffe nga yeewera nga bw’atasobola kugumiikiriza bba kuwasa mukazi mulala.  Twawulira ebigambo bingi mu lumbe wabula tetwabiteekako birowoozo nga tumanyi nti oyo wolokoso w’abantu.  

Akomawo n’atuwa ebiragiro ku yamutta

Nga wayise  wiiki oluvannyuma lw’okuziika, nali nneebase ne nfuna ekirooto, Namuddu yanzijira ne mmulaba ng’atudde ku malaalo ge nga mukambwe ebitagambika era ng’alinga bwe twamuziika mu ngoye ze.  Natya nnyo kubanga nali ndoota bulijjo wabula nga sifunangako muntu antiisa nga bwe yali.

Yang’amba nti, ‘Ggwe nnyabo lwaki mwebase essaawa eno, njagala musitukiremu mugende mwang’ange eyanzita kubanga mumumanyi’.  Namugamba Namuddu wafa guma obeereyo naye tewali yakutta wafa bufi.

Okwogera kino yava mu mbeera n’alyoka amboggolera kye nali simulabangako ng’akyali mulamu kubanga yampa ng’ekitiibwa nga mukulu we.

Olwamboggolera nawawamuka mu tulo ne ntuula ku buliri nga nzenna ntuuyanye, nga nkankana ng’enkuba gw’ekubye era nga mpulira mmenyese ennyingo zonna.  Nakoona ku muto wange  bwe tusula ne mmuzuukusa wabula bwe namunyumiza ekirooto kye nfunye yang’amba naye abadde aloota ekirooto ky’ekimu era nze nkimuggyemu.

Saddamu kufuna tulo kuba nali ntidde nnyo era bwe bwakya ku makya ne nkubira  taata  ne mbimunnyonnyola.

Yang’umya n’ang’amba tetubifaako nnyo kuba ekyo kyabadde kirooto.  Yatugamba bagenda kumulombera dduwa tajja kudda.

Yatukubira nga bamaze okulomba dduwa era byakyukamu,  omuzimu gwasigala kujja mu mbeera y’emu ey’obukambwe naye nga bw’ajja talina kyayogera ajja buzzi nga mukambwe n’abulawo.

Akyajja wabula embeera kati nagimanyiira ne bwe mmuloota sitya mba ng’alabye omuntu omulamu. 

 

Muto wange yafa yaakamala wiiki emu mu ddya