Nnoonya musajja ampasa mmutwale mu Amerika

By Musasi wa Bukedde

Rosemary omusawo ajjanjaba abantu agamba nti abasajja b’omu Amerika bamulemeredde olw’ensonga nnyingi z’atayagala kwogera wabula agamba nti bangi balina embaliga mu bufumbo.

Muyama1 350x210

WUUNO omukyala Munnayuganda abasajja Abamerika gwe balemeddwa. Anoonya musajja ku butaka mu Uganda ng’agamba nti be balimu ekyama.

Ono ye Rosemary Muyama, 38, azaalibwa Mbale kyokka ng’amaze emyaka 15 mu Amerika. Abeera ku kyalo North Hollywood mu kibuga Los Angeles mu ssaza ly’e California.

Alina abaana babiri abawala abali wakati w’emyaka 16-18 be yazaalira mu Uganda nga tannagenda mu Amerika era nga nabo kati yabatwala mu Amerika.

Rosemary omusawo ajjanjaba abantu agamba nti abasajja b’omu Amerika bamulemeredde olw’ensonga nnyingi z’atayagala kwogera wabula agamba nti bangi balina embaliga mu bufumbo.

Ky’ava ayagala okuggya omusajja e Uganda naddala nga mukomole, muwanvu, mweru, tafaayo ku kya bugagga oba talina ssente si kikulu kubanga ye alina bye yeekoledde mu Amerika n’ewaabwe e Mbale. Tafa ku ddiini kyokka tayagala Musiraamu.

 

“Omusajja ono yandibadde amanyi Katonda ate nga si mwavu nnyo kubanga ayinza okuba ng’ekimwavuwaza butabeera mukozi. Noolwekyo njagala atankaluubirize nga munafu nnyo. Yandibadde alina omulimu gw’abadde akola so si abalera engalo.

Njagala ali wakati w’emyaka 38 ne 45. Oba alina abaana si kizibu kubanga nange mbalina,” bw’agattako. Agamba nti bw’amaze okwekolera ssente ze, asazeewo afune omusajja balye obulamu kyokka ne bwe bazaalayo omwana omu ayongere okubagatta si kizibu.

Yategeezezza omusasi wa Bukedde eyamusanze mu Amerika nti, amwagala amuweereze ebimukwatako bwe banaasiimagana, ye ajja kujja mu Uganda babagatte mu bufumbo Obutukuvu amutwale nga bba mu Amerika.

Ennamba y’essimu gye yabawadde okukubako eri +18182317568.