Njagala atayogera nkubiraako, ggwe gwe nnoonya

By Musasi wa Bukedde

NZE Audrine Tushemerirwe 37. Ntunda dduuka e Masanafu era nazaalako. Nnoonya omwami ow’emyaka 45-70, eyazimba, asobola okundabirira ate nga mwetegefu okugenda ewaffe. Kuba 0757705077.

Whats 350x210

Ggwe ani?

Nze Jimmy Amooti

Obeera wa?

Gganda- Nansana

Olina emyaka emeka?

Ndi wa 37.

Okola mulimu ki?

Nsuubula ngatto ku luguudo lw'e Namirembe mu Kampala

Olina abaana bameka?

Nnina babiri

Olina buzibu ki?

Obw'okwogera n'okuwulira

Ozaalibwa wa?

Fort Portal.

Oyagala mukyala alina bisaanyizo ki?

Njagala omukyala atayogera, atasussa myaka 38 omwetegefu okwekebeza omusaayi.

Bakufunye batya?

Ssimu 0705099116.