Ensonga 10 eziremesa abavubuka okusalawo ku bawala b'okuwasa

By Musasi wa Bukedde

OMUVUBUKA bw’akula, aba n’ekirooto ky’omuntu gw’aba ayagala okuwasa oba okufumbirwa.

Blackcoupleonadatepf 350x210

Kale bangi ate basanga akaseera akazibu okusalawo omuwala gw’aba alonze mu bangi okubeera naye mu butongole naddala nga bakyali mu bazadde baabwe.

Abavubuka bangi baba batya okulaga abaagalwa baabwe eri bazadde baabwe oba abeηηanda zaabwe ate nga bbo abawala kino kye baba baagala era oluusi bakola ebintu bingi okusobozesa abalenzi bano okukkiriza babatwale mu butongole naye abalenzi ne bagaana.

Bw’owoliriza abavubuka bano, nabo baba n’ensonga zaabwe lwaki baba batya okusalawo era ezimu ku zo zezino wammanga.

1 Aba akyayagala okubacanga: Emirundi mingi okufuna omuvubuka akooye okubeera mu kisaawe ky’okunoonya naye bamunoonye si kyangu naddala ku basajja kuba abamu batuuka n’okuva mu myaka gy’ekivubuka nga bakyayagala okubeera nga tasalawo ekitali ku bawala. Abawala bino babikoowa mangu ky’ova olaba nti ssinga afuna omuvubuka ng’akyayagala okubeera mu mbeera y’okukyaza, aba tasobola kusalawo oba kwewaayo.

2 Abawala bakula ku misinde okusinga abalenzi: Mu butonde abawala bakula mangu bw’obageraageranya n’abalenzi ky’ova olaba singa omuvubuka akwana omuwala ng’amusingako katono ku myaka, asobola okugaana okumukakasa mu bantu ng’atya nti omuwala ayinza okukaddiwa n’abeera nga takyamusaana ate nga talina bwafunayo mulala.

3 Alinayo omulala: Abamu okugaana okusalawo aba alinayo abawala oba omulala gw’ayagala okukakasa. Kale awo ne bw’omwesibako n’omukolera biki, aba tasobola kusalawo.

4 Abamu abeera n’ebirala byatwala ng’ekikulu mu bulamu bwe: Abavubuka abamu aba asobola okukwana omuwala naye ng’ekyokubeera naye takitwala ng’ekikulu wabula ng’ayagala obeere muganzi we naye nga waliwo ebirala by’ateeka ku mwanjo. Eyinza okuba famire ye, emirimu gye era ng’akimanyi nti ne bwanaakutongoza, tajja kutuukiriza buvunaanyizibwa bwo. Era awo ky’aba alina okukola kugaana.

5 Okutya n’okweraliikirira: Abavubuka abamu basobola okutongoza omuwala si lwakuba nti muyaaye oba takyagala naye olw’okutya mu mutima nti omukwano gwammwe guyinza obutawangaala ate nga tayagala kutongoza bantu bangi, asobola okugaana okukutongoza mu bangi.

6 Obulumi bwe yayitamu mu mukwano:. Abamu baba baasooka ne babeera mu mukwano ne gugaana okutaambula obulungi ng’ate abawala abo baali babalaze mu butongole, kale olw’okutya okuddamu okubayiwa, asobola okufunayo omulala naye ng’agaana okumutongoza olw’obulumi bwe yasigaza ku mutima.

7 Singa ku mikwano gye kuba tekuli y’akakasizza muwala: Olumu abavubuka bano singa babeera n’ebibinja naye nga tewali yali asazeewo, kiba kizibu omu ku bbo okukkiriza nti y’aba asooka okusalawo mu banne era nga tewali gwe beegomba, ky’ova olaba ng’omuvubuka singa abeera n’emikwano nga temuli yali atongozza muwala, kimubeerera kizibu okusalawo.

8 Bw’aba ayagala kaboozi kyokka: Abavubuka abamu baagala abawala nga baagala kimu kyakwesanyusa nabo mu buliri kikome awo sosi kumutwala mu maka nga mukaziwe wadde nga kino omuwala bambi emirundi egyimu aba takimanyi era omulezni ekikka kino ne bw’omukolera ki okumusikiriza akutongoze kuba ayagala kazanyo kyokka. 9 Singa aba takwagala mu mutima: Abamu asobola okubeera n’omuwala era n’amulaga nti amwagala n’amulaga ne mu bantu be naye n’agaana okumutongoza kuba aba si gw’aba ayagala mu mutima.

10 Okubeerawo ng’omukaka okukukakasa oba okusalawo: Kituufu omuwala okwogera ky’ayagala eri omulenzi naye, omuwala ayitiriza okwesiba ku mulenzi oba okumukaka amutongoze amwawule mu balala, omulenzi asobola okumwetamwa ne bw’aba nga yandikikoze.

Kansala Naluyima Rebecca agamba nti emirundi egimu wadde abawala beetaaga okubatongoza naye si kirungi kukipapira kuba emikisa gy’okutomera giba mingi. Kyandibadde kirungi n’olinda omulenzi gw’oba oyagala n’akikugamba kuba olumu bw’oba ggwe omukase, bw’aba takwekengedde, asobola okukujooga ng’alaba ng’eyakuyamba.