Abanoonya mwegendereze abasajja abalina emize gino

By Musasi wa Bukedde

OMUKWANO gwa leero guyingiddemu obufere obw'ekika ekya waggulu. Abantu bangi batandika omukwano n'ekigendererwa ky'okubaako ebintu ebikalu oba ensimbi ze bafuna ku abo be baganza.

Blackcouplefirstdatee1464780566169 350x210

Wabula ebiseera ebisinga abasajja bangi ab'ekika kino bajjira mu kifaananyi ekisiige omuzigo ekibeerera ekizibu omukazi okumanya ekigendererwa kyabwe ekituufu. Wammanga bwe bumu ku bubonero bw'omusajja omufere.

1 Basuubiza kyokka tebatuukiriza Omusajja omufere akwata kisooka mu kusuubiza kyokka eky'okutuukiriza ne kimulema. Basuubiza bingi ng'obugulu bw'eggongolo omuli; okweyanjula ewaabwe, embaga n'ebirala ne balowoozesa omukazi nti atuuse ku musajja omutuufu.

2 Beewola nnyo Oluvannyuma lw'ekiseera kitono, omusajja alaga munne nga bw'alina 'ddiiru' efuna ekiralu eyeetaaga ssente okutambula. Wano omukazi omwangu w'aliira ebbanja lya bbanka oba okuziggya ku mulimu gwe n'aziwa omusajja. Omusajja oluzikwatako mu ttaano, taddamu kulabika.

3 Tebalaga bantu baabwe Omusajja omufere si kyangu kubaako muntu we naddala owooluganda gw'alaga mukazi. Buli mukazi lw'amusaba okumulaga abamu ku bantu be awoza jjo jjuuzi.Omusajja ow'ekika kino ayinza okumala n'omuwala ebyeya kyokka nga ye yekka gw'amanyi.

4 Beesoma Omusajja omufere ky'atayinza kwerabira kwe kwekuutula akadingidi. Yeesoma nga bw'alina ensimbi n'ebyobugagga ebingi. Bamanyi n'okweyita abaana b'abanene.

5 Tebalina ke bavaako Omusajja omufere ayinza okumala ne munne ebbanga kyokka nga talina ky'avaako. Ab'ekika kino be boogerako ng'abasiibuza 'kkaba'. Lw'aba yeevuddemu ajja na kaveera akalimu omugaati, kkiro ya ssukaali ne kkiro y'ennyama. Bino olubituusa n'azimba n'akamala ate n'amala wiiki endala bbiri nga tazzeemu kubigula.

6 Baagala nnyo obulamu obw'ebbeeyi Omusajja omufere kw'omulabira kwe kweteeka mu bulamu obw'ebbeeyi. Bamanyi n'okupangisa mmotoka alowoozese omukazi gw'akwanye nti muloodi. Kuno kwe bagatta okukwata essimu ez'ebbeeyi, okukozesa obuwoowo obutali bwa bulijjo nga n'engoye ze bambala zibafuula ab'ebbeeyi.