Omwami atya Katonda oli wa ompase?

By Musasi wa Bukedde

Ng'atya Katonda, alina eddiini kuba nze ndi Mulokole, akola, eyazimba, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n’okwekebeza omusaayi ng’ali wakati w’emyaka 30-40 nga Munyarwanda oba Muzungu.

Funayo 350x210

Weebale kunyirira

Ekitiibwa kya Mukama

Okikola otya?

Mukama afaayo.

Ggwe ani ?

Divion Jolly Atuhaire

Obeera wa?

Kasese

Olina emyaka emeka?

Ndi wa myaka 30

Okola mulumu ki?

Ndi musawo omutendeke.

Olina buzibu ki?

Nneetaaga omwami owookukola naye bufumbo.

Alina kuba ng’afaanana atya?

Ng'atya Katonda, alina eddiini kuba nze ndi Mulokole, akola, eyazimba, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n’okwekebeza omusaayi ng’ali wakati w’emyaka 30-40 nga Munyarwanda oba Muzungu.

Bakufunye batya?

Bakube 0771830861.

ABANOONY ABABEEZI

NZE SK 32, mbeera mu Kampala. Ntunda dduuka lya masannyalaze. Ndi Musiraamu. Nneetaaga omukyala Omusiraamu ow’emyaka 25- 26, alina empisa ng’ali wakati w’emyaka 25- 26. Kuba 0704647162.

Nze Nolbert Batte, 25. Nnoonya omukazi owookuwasa ali wakati w’emyaka 22-30, eyasomako, akola, omweru, alina akabina ate ng’amanyi ebitambula n’omulembe. Asobola kuba 0758031997.

Nze Muganga. Njagala omukazi ow’empisa, atya Katonda tukole obufumbo Obutukuvu. Kuba 0752167625.

Nze Brian 29. Nnoonya omukazi Omuganda, omunenemu ng’ali wakati wa myaka 20-28. Kuba 0704 259412. Nze Seka, ndi Musiraamu era omukkakkamu. Nnoonya omubeezi ow’emyaka 18. Nja kukuwa ekitiibwa n’essanyu. Kuba 0755465333.

Nnoonya omukyala alina ku ssente, alabika obulungi ng’ali wakati w’emyaka 25-40 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Nze nnina emyaka 29. Kuba 0704769474.

Nze JM, nnoonya sugammami ayoya omukwano ogwanamaddala. Kuba 0784754779. Nze John Kamanzi 30. Mbeera Lubaga. Nvuga mmotoka Juba-Kampala. Sizaalangako. Nnoonya omukyala akola, omulungiko ow’emyaka 26-30. Kuba 0783355822.

Nze Moses 24, mbeera Kabalagala. Nnoonya mukazi ow’emyaka 35-80, ayoya omukwano ng’akola. Nkola ate nga nsoma. Sifa ku gwanga. Kuba 0786050012 owa wandiika ku; Tamalemusa56@gmail.com.

Nze Musa Wakooli 30, mbeera Jinja. Nnoonya omukyala ali wakati w’emyaka 19-25 nga mweteeteefu okuntwala mu bakadde be annyanjule era ng’amanyi okutunda edduuka. Ayagala kuba 0758645757. Nnoonya omukazi owookuwasa ng’alina eddiini mu mutima ng’ate ayagala okukola. Wadde ndiko obulemu bw’obutawulira naye njogera bulungi. Kuba +256756820672.

Nze Pius, mbeera Kampala. Njagala sugammami ng’alina ssente ow’emyaka 20- 60. Nze nnina emyaka 32. Kuba 0773050613.

Nnoonya sugammami eyeetaaga omukwano, ow’emyaka 30-50. Ali siriyaasi nja kukuwa omukwano nkumaleko ekiwuubaalo nga sikujuza. Nze John Parker. Kuba 0752608329.

Nze Alpha 30. Nnoonya sugammami alina ku ssente mulage laavu. Sifa ku myaka kasita abeera ng’alina ssente. Kuba 0782693167. Nze HS 21. Nnoonya omuwala ow’emyaka 18-21, Omusiraamu nga mwetegefu okukola obufumbo ng’ali siriyaasi. Kuba 0705615299.

Nze Nelly 27. Nnoonya sugammami omulungi. Kuba 0750303976.. Nnoonya sugammami ali siriyaasi ali wakati w’emyaka 28- 45. Nze Hassan Yasin. Mbeera Ntinda. Kuba 0777413658.

Nze Matsiko 30. Mbeera Hoima. Njagala sugammami ng’ali ku ARVs ate ng’akola. Ndi makanika nnina garagi. Kuba 0780585105.

Nnoonya omwagalwa ali wakati w’emyaka 23-28 ng’alina omulimu gw’akola kubanga nange nkola. Njagala mukkakkamu ng’atya Katonda. Tujja kwekebeza omusaayi. Nze Jonathan. Kuba 0755 686303.

Nze Hassan Kasirye 26. Nnoonya omuwala ali wakati w’emyaka 19-22. Kuba 0703936671.

Nze Mukiibi 35. Mbeera Lubaga. Ndi muddugavu era muwanvu. Njagala omukyala atya Katonda twagalane. Omwetegefu nkubiraako twogere ebisingawo ku 0700616173.

Nze Jose 30, mbeera Mukono. Sirina omwana. Nnoonya omukazi nga tazaalangako, ow’emyaka 20-30, Omulokole