'Bbomu' ebwatuse n'etta abaana 3 abalala 6 ne baddusibwa mu malwaliro nga bapooca

Omu ku baana Sam Lukamba, ow;emyaka 10 nga mujyizi mu Faith Primary School afiiriddewo. Ekintu kino kibwatuse ku ssaawa 7:20 ez'akawungeezi ka leero.

Ekintu ekiteeberezebwa okuba bbomu kibwatukidde ku luguudo lwa Kyaggwe Road okumpi n'Olubiri e Mengo abaana ba Pulayimale ababadde bazannya omupiira basatu ne bafiirawo abalala mukaaga ne baddusibwa mu malwaliro nga bataawa!

Okusinziira ku omu ku babaddewo ataagadde kwatuukiriza mannya ge, 'ekintu' kibwatukidde mu kisaawe ekiri okumpi n'Olubiri e Mengo ku ssaawa 7:20 ez'akawungeezi ka leero.

Mu kisaawe mubaddemu abaana ba Pulayimale abasukka mu 20 nga bazannya akapiira . Ekisaawe kirinaanye n'Olubiri e Mengo.

Omu ku baana Sam Lukamba, ow'emyaka 10 ng'abadde muyizi mu Faith Primary School afiiriddewo.

Abalala abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaaliro lya KCCA mu Kisenyi n'e Mulago nga taasulewo taasiibewo y'ali ku mimwa olw'ebisago ebyamaanyi.

W'osomera bino nga Poliisi evunaanyizibwa ku kutegulula bbomu yasazeeko dda ekifo okutandika okunoonyereza okuzuula ekika kya 'bbomu' ekibwatuse!

Wabula n'abategeezezza nti abaana bano baalonze 'ekintu' ne bakizannyisa nga tenannabwatuka.


Stephen Tanui, aduumira poliisi ya Kampala Metropolitan atuuse mu kifo awabwatukidde ekigambibwa okuba bbomu ng'ono azze n'aba 'Bomb Squad' wamu n'embwa ezikonga olusu n'ategeeza nti bakyakola okunoonyereza okuzuula oba ddala ekibwatuse ebadde 'bbomu'.

Ye omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga akakasizza okubwatuka n'alabula abaana okuba abeegendereza n'ebyuma bye bazannya nabyo kuba bbomu tezikaddiwa era wonna we ziba zisuuliddwa zeezira kukwatibwako nga zibwatuka.

Ayongeddeko nti Poliisi egenda mu malwaliro okusisinkana bazadde b'abaana  abafunye ebisago n'okuzuula ebibakwatako.