Rev. Henry Katumba alondeddwa ng'omulabirizi wa West Buganda omuggya

By Benjamin Ssebaggala

KKANISA ya Uganda eronze Rev. Henry Katumba-Tamale ng’Omulabirizi wa West Buganda omuggya okudda mu bigere by’omugenzi Godfrey Makumbi eyafudde mu May omwaka oguwedde.

Malawo1 350x210

KKANISA ya Uganda eronze Rev. Henry Katumba-Tamale ng’Omulabirizi wa West Buganda omuggya okudda mu bigere by’omugenzi Godfrey Makumbi eyafudde mu May omwaka oguwedde.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa omuwandiisi w’ekkanisa Can. Amos Magezi, yategeezezza nti Rev. Canon Samuel Kahuma ye mulabirizi wa Bunyoro Kitala omuggya okujjuza ekifo omuva Rt. Rev. Nathan Kyamanywa eyavuganya ne Ssabalabirizi Stanley Ntagali ku kifo kino. Kyamanywa agenda kuwummula.

Bano baabalondedde mu  lukiiko lw’Abalabirizi b’ekkanisa ya Uganda olwatudde e Namirembe ku Lwokusatu .

Rev. Katumba ekiseera kino aweerereza mu Bulabirizi bw’e Namirembe ng’omuyambi w’Omulabirizi Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira mu kunoonyereza.

Katumba ekiseera kino era y’atwala Obusumba bw’e Kamuli. Wakati wa 2005 ne 2015 abadde aweerereza ku Uganda Christian University ng’omuyima w’abayizi omusajja era nga y’atwala eby’ettaka ne ffaamu ya yunivasite e Ntawo.

Yakolako nga ddiini w’abayizi  ng’avunaanyizibwa ku by’effumbiro n’endya y’abayizi.

Yasomesa ku Uganda Martyrs’ Seminary, Namugongo, era n’akulirako Bishop Hannington Theological Institute e Mombasa mu Kenya era aweererezza mu busumba obw’enjawulo mu Bulabirizi bw’e Namirembe.