‘Nabikolo yanoonya akafo akalungi aw’okuttira bba Kasiwukira’

By Alice Namutebi

OMUJULIZI mu musango gw’okutta Kasiwukira alumirizza nnamwandu nti yaleeta omutemu mu nju ya bba n’agimulambuza ng’amulaga ekifo ekirungi w’asobola okwekweka n’amutta.

Gaba 350x210

OMUJULIZI mu musango gw’okutta Kasiwukira alumirizza nnamwandu nti yaleeta omutemu mu nju ya bba n’agimulambuza ng’amulaga ekifo ekirungi w’asobola okwekweka n’amutta.

Owa poliisi, Joel Ayiko, akola ku byamawulire ku kitebe ky’obwambega e Kibuli, yaleese n’akatambi ka vidiyo ke yakwata nga kalaga omuvubuka eyategeerekese nga Alex ng’annyonnyola engeri nnamwandu Sarah Nabikolo gye yamulambuza ennyumba n’amulaga ne w’aneekweka okutta bba Eria Ssebunya Bugembe Kasiwukira.

Mu katambi kano, akaakwatibwa nga November 22 ne 28, 2014 mu maka g’omugenzi e Muyenga, mulimu nnamwandu Nabikolo, omugagga Godfrey Kirumira, abaserikale b’amakomera abaali bakuuma Alex (eyali alabika nti ku budde obwo yali ava mu kkomera), abaana b’omugenzi n’abalala abataateegerekese.

Obwedda Nabikolo ne muto we Nakkungu beetegereza akatambi nga bwe beekuba obwama ate ng’omusibe omulala Jaden Ashiraf talina gw’anyega.

Ayiko yategeezezza omulamuzi Wilson Musalu Musene nti Alex yabategeeza nti Jaden yeyamuwa ddiiru y’okutta Kasiwukira ng’entegeka eyasooka yali ya kumuttira mu maka ge e Muyenga.

“Alex yatutwala mu maka g’omugenzi n’atugamba nti oluvannyuma lwa Jaden okumuwa ddiiru, ye Nakkungu yamuwa ngeri gye banatta Kasiwukira era ne bamuwa ebiragiro nti bw’aba ayingira mu ggeeti, alina kweyogerako ng’omusiizi wa langi.

Alex aba akyatunnyonnyola ku ggeeti wabweru, Kirumira, nnamwandu n’abantu abalala ne bafuluma olwo n’atandika okutunnyonnyola nga mmukwata ku katambi mu lujjudde,” omuserikale bwe yagambye.

Yagasseeko nti Alex yasonganga ku Nabikolo nti baasisinkanako n’amulambuza enju okumulaga ne mu kasonda awali amadaala agambuka waggulu w’aneekweka atte bba.

Akatambi, akaazannyiddwa mu kkooti ng’ebigambo tebiwulikika bulungi nga n’ebifaananyi tebiteredde, kalaga Nabikolo, eyali ayambadde sikaati enjeru nga yeebikkiridde akasuuka aka kitaka nga ye n’abalala bagoberera Alex eyali annyonyola ebifo bye baamulambuza okuttiramu.

Alex yatwala abaserikale ku poliisi e Muyenga gye baasanga Jaden n’amulumiriza nti ye yamuwa ddiiru.

Balooya b’abasibe, okuli MacDosman Kabega ne Radislaus Rwakafuzi baategeezezza omulamuzi nti ensonga ezoogerwako zirumika abantu baabwe mu musango guno n’olwekyo basaana okuwulira buli kigambo ekyogerwa.

Omulamuzi yalagidde oludda oluwaabi lwetegeke bulungi ku Mmande n’akatambi kaddemu okuzannyibwa nga buli muntu awulira ebyogerwa.