Buganda eridde mu kabineeti ya Museveni empya

By Ahmed Mukiibi

KYADDAAKI, Pulezidenti Museveni afulumizza Kabinenti empya mw’akoledde enkyukakyuka ssinziggu mw’agobedde Baminisita 35, ebifo byabwe n’abiwa abantu abapya omuli n’ab’oludda oluvuganya Gavumenti.

Yogera 350x210

KYADDAAKI, Pulezidenti Museveni afulumizza Kabinenti empya mw’akoledde enkyukakyuka ssinziggu mw’agobedde Baminisita 35, ebifo byabwe n’abiwa abantu abapya omuli n’ab’oludda oluvuganya Gavumenti.

Kabinenti empya Pulezidenti gy’alonze y’abantu 81 nga kuliko Omumyuka wa Pulezidenti, Katikkiro, Baminisita abajjuvu 30 ne baminisita ababeezi 49.

Eno ye Kabinenti, Pulezidenti Museveni gy’agenda okukola nayo mu kisanja kye ekyokutaano oluvannyuma lw’ennaku 25 bukya alayizibwa ku Bwapulezidenti nga May 12, 2016.

Edward Kiwanuka Sekandi, Pulezidenti Museveni amuleseewo mu kifo ky’abaddemu ng’omumyuka wa Pulezidenti ne Dr. Livinstone Ruhakana Rugunda naye n’asigala mu kifo kye nga Katikkiro wa Uganda.

Wabula bombi, Sekandi ne Rugunda, balina okusooka okukakasibwa Palamenti , balyoke baddemu okutuula mu ofi isi zaabwe.

 ajji bdul adduli gwe baawadde obwaminisita bwa guli na guli mu kabineeti empya Hajji Abdul Nadduli gwe baawadde obwaminisita bwa guli na guli mu kabineeti empya

 

BUGANDA ERIDDE

Mu kulonda Baminisita, Pulezidenti Museveni agaganyizza ebifo mu bitundu bya Uganda ebina; Bugwanjubwa, Buvanjuba, Obukiikakkono ne Buganda.

Ku Baminisita abajjuvu 30, ekitundu eky’obugwanjuba kye kisinze okufuna baminisita abangi nga kifunye ebifo 12 nga bano bakendeddeko bw’ogeraageranya ku Kabinenti ebaddewo nga babadde 17.

Buganda y’esinze okufunamu kubanga ku bifo ebitaano (5) by’ebadde nabyo mu Kabinenti enkadde, yeeyongeddeko ebifo mukaaga nga kati erina ebifo 11 ebya baminisita abajjuvu.

Ekitundu ky’ebuvanjuba kifunye baminisita abajjuvu bataano nga ye Gen. Jeje Odongo, Sam Cheptoris, Irene Muloni, Ntege Azuba ne Ester Mbayo.

Mu kitundu ky’obukiikakkono, Museveni awaddeyo baminisita abajjuvu bana okuli, Gen Moses Ali, Jane Aceng, Betty Amongi ne Hillary Onek.

Kabineeti mu bujjuvu yiiino;

New Cabinet by The New Vision