Omugagga eyagenze mu sawuna okweyoteza e Kyaliwajjala afiiriddeyo!

By Lawrence Kitatta

Omugagga w’e Namugongo yagenze mu ‘sawuna’ e Kyaliwajjala ku wiikendi ng’enkola ye bw’ebadde; wabula be yalese awaka baabaddizza mawulire nti omuntu waabwe afudde!

Well 350x210

Omugagga w’e Namugongo yagenze mu ‘sawuna’ e Kyaliwajjala ku wiikendi ng’enkola ye bw’ebadde; wabula be yalese awaka baabaddizza mawulire nti omuntu waabwe afudde!

Abaabaddeyo baategeezezza nti Martin Musinguzi yasoose mu ‘jjiimu’ n’asitula ebyuma oluvannyuma n’ayingira ‘sawuna’.

Yeeyotezza okumala ekiseera wabula baamulabye afuluma aboyaana era ekyaddiridde kugwa ku ttaka.

Mark Kanjakko eyabadde mu ‘Sawuna’ ne Musinguzi yagambye nti baamulabye afuluma ne balowooza nti akooye wabula baawulidde ekigwa ebweru era okufuluma nga munnaabwe Musinguzi y’agudde ebweru wa ‘Sawuna’.

Awo we baategeeredde nti ne mu kufuluma yabadde tali mu mbeera nnungi.

Baamuyoddeyodde okumutwala ku ddwaaliro lya Life link e Kyaliwajjala wabula baamutuusizza amaze okufa era kwe kunoonya amasimu g’abantu be ne babakubira okubabikira omuntu waabwe.

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga akawungeezi ku Afronica Bar e Kyaliwajjala, Musinguzi gye yabadde agenze okusala amasavu.

Wabula waabaddewo okukubagana empawa ng’abantu abamu bagamba nti Musinguzi ekizibu yakifunidde mu jjiimu ate abalala nga bagamba nti yakifunidde mu ‘Sawuna’ era poliisi byonna yabikung’aanyizza.

Ibrahim Mugalaasi yategeezezza nti ku Lwomukaaga emisana, Musinguzi yabaddewo mu Kyaliwajjala n’agenda okulambula ku mayumbage mu biseera eby’omuttuntu.

Olwavuddeyo n’akubamu ku lwali ne banne ne yeeyongerayo. “Buli kawungeezi abadde atera okugenda mu jjiimu okukola dduyiro n’okweyoteza mu sawuna. Ku Lwomukaaga ssaawa nga 2:00 akawungeezi yagenze ku bbaala ya Afronica gye yafiiridde” Mugalaasi bwe yannyonnyodde.

Akawungeezi yavuze mmotokaye Prado UA V 238Lokugenda ku Afronica. Musingizi abadde alina amaka e Namugongo Janda gy’abadde asula ng’atunda ettaka n’amayumba.

Abadde n’amayumba g’abapangisa ga mirundi etaano okuli: Kira, Kyaliwajjala Kimbejja, Kyaliwajjala Kapeera, Namugongo ne Janda.

Akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi e Kira Constance Nyirasenga yategeezezza Bukedde nti poliisi yatutte omulambo e Mulago abasawo bazuule ekyavuddeko okufa kwa Musinguzi kyokka bakyalinze lipoota y’abasawo.

Olwafudde emmotokaye ne bagitwala ku poliisi e Kira w’ekyakuumirwa. Moses Kiwanuka nannyini Afronica Bar yagambye nti byonna we byagwiriddewo yabadde taliiwo wabula nagattako nti kyannaku nnyo okuba nti omu kuba kasitooma be yafunye obuzibu era n’asaasira n’abooluganda olw’ekikangabwa ekyo. Musinguzi yaziikiddwa eggulo e Kabale.

Yalese omwana omu ne Nnamwandu nga mu kiseera kino ali lubuto lukulu.

OMUSAWO AWABUDDE KU SAWUNA:

Dr. Grace Nambatya akulira okunoonyereza ku kujjanjabisa obutonde nga muno mwemugwa n’enkola y’okweyoteza mu Sawuna yagambye nti omuntu yenna agenda okweyoteza n’okukola jjiimu alina okusooka okwekebeza endwadde z’omutima nga Puleesa kubanga kibeera kyangu omuntu oyo okufuna obuzibu obuyinza n’okumuviirako okufa.

Abakugu abalala bagamba nti omuntu agenda mu sawuna yandibadde asooka kunaaba n’ayingirayo ng’omubiri gutonnya amazzi amabisi.

Bagattako nti okuyingira olina okusooka okunywa giraasi z’amazzi agannyogoga bbiri, tolina kubeera mu ngoye.

Beera ng’oyiwa amazzi ku lwazi ofune omukka okwewala okubeera mu lubabu olwereere ate tosaanye kulwamu kusussa ddakiika 25.

Bongerako nti; bw’ofulumayo naaba omubiri guweweere era ddamu onywe amazzi oba eky’okunywa ekiweweera.