Meeya atongozza okufuuyira ebiku mu Makindye

By Musasi wa Bukedde

MEEYA w’e Makindye, Ali Ng’anda Mulyannyama akunze abantu baakulembera bave mu nsonyi ng’ebiku bimalawo.

Malamu 350x210

MEEYA w’e Makindye, Ali Ng’anda Mulyannyama akunze abantu baakulembera bave mu nsonyi ng’ebiku bimalawo.

Abalabudde nti oyo awulira ng’atya okukyasanguza mu lujjudde nti ewuwe gyebiri waakiri agendeyo amukube akaama basobole okubifuuyira batangire endwadde.

Bino yabyogedde atongoza Bulungibwansi mu muluka gwa Makindye I ne Kibuye I ku Lwokutaano.

Era mu kutandikirawo kaweefube w’okulwanyisa ebiku bino, baakoze ekikwekweto mu miruka egyo ne batambula nju ku nju nga bafuuyira ebiku.

Kansala Hawa Semujju yategeezezza nti abantu abasula mu Muluka gwa Makindye I basoba mu 3000 kale bwe bateefubaako ebiku byakwongera okusaasaana biyingire mu mayumba gaabwe bibalume.

Yabakuutidde baleme kusirikira biku kubanga si bulwadde bwa nkiso ate tekirina watuufu we kiva kubanga n’omugenyi akyadde ewuwo asobola okukikuleetera.