Afumise bba ekiso lwa kumulondoola n'amumalako emirembe

By Musasi wa Bukedde

Hawah Namwanje, 25 ow’e Bweyogerere mu Kakajjo Zooni mu Munisipaali y’e Kira mu Wakiso kigambibwa nti ye yafumise bba Eddy Mugwanya, 29 ekiso.

Salako 350x210

OMUKAZI afumise bba ekiso ku mutwe ng’agamba nti akooye okumulondoola buli w’alaga.

Hawah Namwanje, 25 ow’e Bweyogerere mu Kakajjo Zooni mu Munisipaali y’e Kira mu Wakiso kigambibwa nti ye yafumise bba Eddy Mugwanya, 29 ekiso.

Mugwanya yagambye nti Namwanje yamuyise ku Mmande ne basisinkana ku bbaala ya Tex Lounge e Bweyogerere mu Cental Zooni okunywa era yamusanze ne muganda we ne banyumirwa obulamu.

Olwamaze okunywa omwenge, Namwanje n’asendasenda Mugwanya bagende bonna kuba amwagala nga bba newankubadde nga baafunamu obutakkaanya ne baawukana.

Mugwanya agamba nti olwatuuse mu nnyumba Namwanje n’atandika okumuvuma nga bw’amulangira obwenzi ng’alina abakazi b’apepeya nabo.

Zaabadde ssaawa 8.00 ez’ekiro era oluyombo bwe lwanyinyittidde, Namwanje kwe kuggyayo ekiso n’afumita Mugwanya ku mutwe n’adduka.

“Namwanje olwamaze okunfumita n’ansibira mu nnyumba n’adduka ku poliisi era nasigadde ndaajana ekyawalirizza landiroodi okumenya kkufulu n’anzigyamu. Poliisi yasanze bamaze okunfulumya”, Mugwanya bwe yagambye.

Poliisi y’e Bweyogerere ng’ekulembeddwa akulira bambega baayo, Eldard Mwesigye yakutte Namwanje n’emuggulako omusango gw’okugezaako okutta omuntu ku fayiro nnamba SD REF.22/10/01/2017 ku poliisi y’e Bweyogerere.

Namwanje yeegaanyi eky’okugezaako okutta bba n’agamba nti Mugwanya ye yeetuusizzaako obulabe ng’agamba nti asusse okwagala abasajja abalala.

Namwanje yagambye nti Mugwanya obwedda ayomba bw’amulangira okusuza abasajja ku mufaliso gwe yagula. Omufaliso guno Namwanje yanoba nagwo nga kw’asula n’omwana we.

N’agamba nti bwe yayawukana ne Mugwanya yafuna omusajja omulala okulabirira omwana kuba kitaawe talina ky’amuwa era ne bwe baabadde bagenda ku poliisi baabadde bonna. Yagambye nti Mugwanya ali ku kakodyo k’okumusibisa amulemese omusajja kuba tayagala kumulaba na musajja yenna gwa ayagala mu bulamu bwe okuggyako ng’amuddidde.