Enkaayana z'abakolera mu katale k'e Seguku zirinnye enkadaggo

By Samuel Balagadde

ENSONGA z’akatale k’e Seguku ku lw’e Ntebe zikyalanda oluvannyuma lw’abasuubuzi okusaba ekitongole kya UNRA okubayambako okunoonyereza ku ssente ezaabaweebwa Pulezidenti ez’okugula ettaka gye zadda.

Seguku60 350x210

Kiddiridde ekitongole kya UNRA okusisinkana abasuubuzi bano abakununkiriza mu 1,000 nga beegattira mu kibiina kya ‘Seguku Tukolebukozi Traders Association’ ku by’okwamuka amabbali g’oluguudo we bakolera.

Ssentebe waabwe, Badru Kabigumira yagambye nti okuva mu 2007 bwe kaamenyebwawo baafuuka mmomboze.

Yagambye nti Pulezidenti Museveni yabawa obukadde 750 okugula ettaka we bagenda okuzimba akatale wabula tezimanyiddwa gye ziri.

Musa Rwenduru maneja UNRA akola ku bikwekweto yagambye nti, ensonga z’abasuubuzi bano balina okuzeemalira nga bayita mu bakulembeze baabwe wabula nga balina okwamuka ekifo.

Matia Lwanga Bwanika ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso yategeezezza abamu ku basuubuzi be beeryamu olukwe ne batunda ettaka ly’akatale.