Embeera ya Mayanja Nkangi eyongedde okwonooneka: Azibye omumwa

By Benjamin Ssebaggala

EMBEERA ye yali Katikkiro wa Buganda, Joash Mayanja Nkangi 86, yeeyongedde okuba embi.

Mayanja 350x210

EMBEERA ye yali Katikkiro wa Buganda, Joash Mayanja Nkangi 86, yeeyongedde okuba embi.

Aba famire ye baategeezezza nga bw’azibye amaaso n’omumwa ekivuddeko abasawo ne famire okuyimiriza ababadde baagala okumubuuzaako. Nkangi ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Nakasero Hospital gye yaweereddwa ekitanda ku mwaliiro ogwokusatu.

Omu ku booluganda abaamukyaliddeko ku Lwokuna ku makya yategeezezza Bukedde nti embeera ya Nkangi yeeraliikiriza era asaana ssaala. “Omulwadde mmutuuseeko nga tasobola kwogera yadde okwekyusa.

Okutunula kumukaluubiriza era ekiseera ekisinga akimala azibiridde ng’alabika mugonvu nnyo”. Bwatyo omu ku booluganda bwe yategeezezza.

Embeera eno y’evuddeko aba famire okugaana abantu okugendayo kuba gwe baagala okulaba mu kiseera kino tasobola kubalaba na kubategeera yadde okwogera. Baasabye abantu okumusabira nga bw’anaassuuka bajja kusobola okumulabako.

Abaana ba Mayanja okuli, Tshaka Mayanja ne Josephine Mayanja bakkirizza nga kitaawe bwali ku kitanda e Nakaserokyokka ne basaba ensonga bagira bazeekwatiramu nga famire.

Omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo yategeezezza nti ensonga z’obulwadde bwa Mayanja zikyali mu mikono gya famire n’asaba aba famire bagira balekerwa eddembe okuzeekolerako.

Twayogeddeko n’omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Noah Kiyimba ku bulwadde bw’eyali Katikkiro wa Buganda n’atutegeeza nti akyebuuza okumanya ky’aba ayogera bw’anaakifuna ajja kutuddira.

Eyaliko Katikkiro wa Buganda Daniel Muliika yennyamidde embeera ye yali Katikkiro munne mw’ali n’alumba Gavumenti okulemwa okukola ku malwaliro ekivuddeko abantu okukaluubirirwa okwejjanjaba ne bawalirizibwa okugenda mu malwaliro ag’obuseere.