Uganda awatali Mayanja Nkangi

By Musasi wa Bukedde

KIZIBU okumanya Uganda bwe yandibadde ssinga Jehoash Mayanja Nkangi teyavuga mmotoka olwa May 23, 1966 n’agisimba ku Lubiri e Mmengo n’ategeeza Abaganda abaali bakuhhaaniddewo lwaki tebasaanye kulwanyisa magye ga Obote ssinga ganaalumba Olubiri.

Mayanjankangii 350x210

Bya John Weeraga

Ebyafaayo biraga nti ennaku nga ttaano ezaakulembera okulumba Olubiri, ehhambo zaali ziyitihhana nti amagye ga Obote gaali gaakulumba.

Abaazirwanako n’Abaganda abawerako baagumba ku Lubiri ng’ekibulako kimu kubakunga kwahhanga mulabe. Kyokka Nkangi yagenda ku Lubiri n’abalabula obutalwana.

Olwo nga May 21, Obote amaze okutondawo ebibinja bibiri, eby’amagye ga Special Forces ate nga May 23 n’akwata abaami ba Kabaka basatu abaali abakambwe era abavumu.

Kisoboka okuba nga bino bye byatiisa Mayanja Nkangi atuuke n’okugaana Abaganda okulwanyisa amagye ga Obote ku olwo olwa May 24? Ekyaliwo ggwe nange, naye okusinziira ku muwandiisi, Phares Mutiibwa mu kitabo kye Uganda Since Independence, Abaganda baabulwa obukulembeze mu kiseera ekyo, ne balekerera Kabaka waabwe mu kaseera akazibu.

“Ssinga waaliwo omukulembeze akunga abantu naddala mu bitundu eby’omutawaana nga Katwe, Bwaise, Kasubi ne Nakulabye, amagye ga Obote gandisanze akaseera akazibu okuwahhangusa Muteesa era ebyobufuzi bya Uganda byandibadde birala nnyo n’okubonaabona tekwandibaddewo,” bwatyo Mutiibwa bwe yawandiika.

Ye Mutiibwa agamba nti ekimu ku bizibu ebikyasinze okukosa Uganda, y’engeri Buganda gye yafiirwamu amasaza Buyaga ne Bugangazzi, nti ssinga tekyali kino, Mmengo teyandifunye Katikkiro Mayanja Nkangi, eyali omuto ennyo ( emyaka 33) nga noolwekyo yali talina maanyi gakugira Gavumenti ya Obote kukola mivuyo gyonna gye yakola.

Ate nga n’okujja mu buyinza okusinziira ku Mutiibwa, bambega ba Obote mu Lukiiko e Mmengo baamuyambako. Kino ne Nkangi naye alinga akikkaatiriza, kubanga mu mboozi ne Sunday Vision, eyafuluma nga April 20 2014, Nkangi agamba nti olumu ku Ssande mu August wa 1964, omuntu omu yajja n’amutegeeza nti baagala yeesimbewo ku Bwakatikkiro kubanga eyaliko Michael Kintu baali bamukooye.

“Nze nali sikikkiriza, nali muto, nga siri mufumbo, ate nga ne Kabaka tammanyi. Ne bwe baaleeta erinnya lyange ku Bwakatikkiro saakuba kampeyini kubanga nali mmanyi sijja kuyitamu, naye kyanneewuunyisa nga bannonze mu bangi okulya ekifo kino,” Nkangi bwe yategeeza nga tannafa.

Kino Obote kye yali ayagala era mu mwezi ogwo ogwa August wa 1964, Obote mwe yasattululira omukago gwe yali akoze ne KY mu 1962 n’agoba ne baminisita ba KY mu Gavumenti abaali bafunye ebifo bino nga basinziira ku mukago guno.

Mutiibwa agamba nti abakulembeze ba Buganda mu 1966 baasuula mu nnyanga eggwanga lino, kubanga baalemelerwa okukunga abantu okuguguba, Mayanja Nkangi yasooka kwekukuma mu ofiisi ye, oluvannyuma n’addukira e Maganjo-Kagoma, ate oluvannyuma n’addukira mu kimotoka kya seminti ekyamutuusa e Busia.

Yayitira Nairobi okutuuka mu buwahhanguse e Bungereza. Mu 1971 nga Idi Amin awambye obuyinza, Nkangi yakomawo kuno nga musanyufu. “Amin akoze ekyafaayo, okuggya mu buyinza nnaakyemalira Obote, eggwanga linaafuna ku buweerero,” Nkangi bwe yayogera okusinziira ku Mutiibwa.

Mu 1985, Nkangi eyali akulira CP, Bidandi Ssali owa UPM ne Dr. Paul Ssemogerere owa DP beegatta ku Gavumenti ya Tito Okello Lutwa.

Nkangi yali minisita w’ebyabakozi, kyokka nga tannafa, abadde akyogera lunye nti Lutwa kyamutwalira wiiki bbiri okumukkirizisa okutwala ekifo kino n’amuggya ku mulimu gwe ogw’obwalooya mu ofiisi ye eyabeeranga ku Nkrumah Road.

Eky’ennaku nti Nkangi yeerabira nti Lutwa yali mu UNLA eyatta Abaganda bangi e Luweero nga ne mu kiseera ekyo we yafuukira minisita abantu baali bakyattibwa!

Kyokka wadde Nkangi yalina ensobi, naye mu kitabo ‘The desecration of my Kingdom,’ Ssekabaka Sir Edward Muteesa II agamba nti Nkangi yagezaako kye yasobola okulwanyisa obukulembeze obutagoberera mateeka.

Agamba: Obote yali amaze ebbanga ng’ayita ku leediyo ne ttivvi okwonoona erinnya lyange n’erya Buganda. Naye Olukiiko lwe lwali lusigaddewo okumuwakanya ng’agezaako okumenya Ssemateeka. Ssemateeka oyo ye yali atuwa enfuga eya federo ate nga twali tugirwaniridde.

Byonna Obote bye yali ayagala okuleeta byali byeraga lwatu nti ekifo kya Buganda mu Uganda tekikyaliwo. Enkyukakyuka ezimu ze yali ayagala yalina okufuna obuwagizi bwa bammemba b’Olukiiko basatu ku bana, okusobola okuyitamu kale ng’alaba tekisoboka.

Kye yakola, kwe kukubira Katikkiro Mayanja Nkangi n’amusaba amulabe mu bwangu kubanga waaliwo ekirina okukolebwa.

Zaali ssaawa 5:00 ez’ekiro, Katikkiro n’amugamba nti obudde buyise era yeebase. Yamugamba nti bwe kiba ng’ensonga za maanyi, azisse mu buwandiike.

Naye Nkangi ndowooza yatya kumutega katego, era Obote teyabiddamu. Ffenna twali tukimanyi nti Obote anoonya ekintu kyonna kwe yeesonsa.”