Maama ne mutabani babakutte lwa kufera bukadde 6

By Paddy Bukenya

POLIISI ekutte maama ne mutabani we n’ebaggalira lwa kufera musuubuzi wa kasooli obukadde mukaaga ne babulawo.

Pa 350x210

Hannifer Nantongo 45, ne mutabaniwe, Sulaiman Ssegirinya, 20 abatuuze b’e Kayabwe mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi be baakwatiddwa poliisi y’e Mpigi lwa kufera Kennedy Kizito omusuubuzi wa kasooli mu Kayabwe ne bamutunza ekibanja kye abawe ssente bamusuubulire kasooli ne babulawo nazo.

Nantongo ne Ssegirinya okukwatibwa kiddiridde Kizito okuddukira ku poliisi y’e Kayabwe ne yeekubira enduulu nti bano beekobaanye ne bamuggyako 6,400,000/- nga bamulimbye nti bagenda kumugulira kasooli mu bitundu by’e Kalungu oluvannyuma Ssegirinya n’abulawo nazo ne bamulimba nti mulwadde nnyo era yaweereddwa ekitanda ssente ne bazimubbirako mu ddwaaliro.

Nantongo yasoose kulimba poliisi nti mutabani we ali mu ddwaaliro kyokka n’akyusa nti yagenze kusuubula kasooli era bw’atwaliddwa ku poliisi Ssegirinya n’agendayo okumuggyayo naye ne bamukwata ne babaggalira.

Ssegirinya yategeezezza nti ssente baazimubbiddeko mu ssabo erimu e Mubende ng’agenze okumujjanjaba kyokka oluvannyuma n’agamba nti yazitadde ku ssimu ne bazikwatirako.

Kizito agambye nti yali ayagala kubawa obukadde busatu bwokka kyokka Nantongo n’amusaba atunde ekibanja ayongereko ku ssente bamusuubulire kasooli awerako zonna ne bazitwala.

Aduumira poliisi mu Mpigi, Ahmed Kimera Sseguya yagambye nti abakwate bagguddwaako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju ku fayiro CRB;130/2017 era baakuvunaanibwa.