Nneetooloola Bambi Baaba Baabuwe ne mmuzuula nga mufere - Paasita Male

By Musasi wa Bukedde

Paasita Solomon Moses Male, amaze ebbanga ng’anoonyereza ku bufere mu bapaasita n’eddiini ayogera bwati ku Mugonza:

Pastorsolomonmosesmale11 350x210

EKISINZE okunnuma kwe kubeera nti Mugonza afudde tasasulidde bikolobero bye yakola.

Nsigadde siri mumativu kubanga tetusobodde kugenda mu kkooti ya nsi yonna gye yali agamba nti ampawaabidde ng’agamba nti mmuyigganya.

Nali musaale okulaba nga Gavumenti eteekawo akakiiko okubuuliriza ku Serulanda n’okulaba nti tazimba kibuga mwe yali aferera Abazungu n’Abaddugavu.

Akakiiko akaakulirwa Polof. Nelson Ssewankambo nga kateekeddwaawo mu 1998, nali omu ku baakunga abantu okugenda mu kakiiko okuwa obujulizi.

Nzize nfuna okutiisibwatiisibwa okw’enjawulo okulaba nga nva ku bintu bino naye nga sisobola kuleka musajja atandiseewo ekidiidiini afere abantu.

Mutabani wa Mugonza, Muyonja Ssendagirwa yampandiikira ng’andabula neesonyiwe okutaataaganya kitaawe Bambi Baaba Baabuwe.

Akakiiko kansaba nkannyonnyole kye kitegeeza ng’omuntu atonzeewo ekidiinidiini era nakikola.

Nakannyonnyola engeri ebidiinidiini ebimeruka n’obulabe bwabyo kubanga nali mpulidde nti mu byamagero Mugonza bye yali akola ng’asobola okuyita emisota n’alondamu ogulumye omuntu!

Nalabula ku kuzimba ekibuga Mugonza kye yali ateekateeka era n’ekyaddirira kwe kuzuula nti yaguza Abazungu poloti ez’empewo mu kibuga kino.

Teyakoma mu Amerika wabula ne China yabayisa kye kimu. Ebidiinidiini ebifaanana kino, bitondawo emitendera omubeera obubinja obutono ennyo nga bwe bulina okumanya ebyama.

Abo abatuula ku mmeeza emu n’akikulira be basobola okumanya byonna ne bateekawo akabinja akalala ng’abakalimu baluubirira kukuzibwa okutuuka ku bali abatuula n’omukulu.

Abagoberezi abasinga obungi babamatiza ne bagoberera nga beemalirayo naye nga tebamanyi kituufu ekigenda mu maaso.

Enteekateeka z’okuzimba ekibuga kya LAKE VICTORIA FREE TRADE ZONE zaazimbirwa ku musingi gwa bufere.

Gavana w’ekibuga kino Beenunula Eyenunula Nunumisa yafera kkampuni ya Equity Retirement Distributors LTD obukadde bwa ddoola 105 era baamuvunaana n’abalala 142.

Ssente baazifera nga basuubiza okuguza Abamerika poloti mu kibuga kino abamu nga babaguza emigabo mu kkampuni ezitaliiyo.

Ng’oggyeeko ezo, baagenda bakola obufere obw’enjawulo mu biti n’emitendera egy’enjawulo.

Ng’awamu basaba ssente okuzibawa awatali buwandiike bwonna wabula okukolera ku kwesigaηηana.

Ebiwandiiko bingi bye bazze bawaanyiziganya n’Abazungu abamu be bafeze.

Ebidiinidiini bingi bizze bimerukawo okwetooloola ensi ne binyaga, okutta n’okulumya bantu mu ngeri ey’enjawulo.

Mu Uganda toyinza kwerabira Restoration of the Ten Commandments of God eya Kibwetere eyayokya abantu n’ebatta.

Tunuulira ekyokulabirako kya Nabbi Wilson Bushara e Kikamulo, Luweero.

Aba Serulanda abeerimbika mu minisita omubeezi ow’amakolero ne bamuwuddiisa nga bayita mu Kagera Eco Cities Ltd naye nga byonna byetooloola bisibira ku muntu omu Mugonza Bambi Baaba Baabuwe.

Mugonza abaddenga agamba nti Katonda lwaki yali yeewaηηangusa n’alemera mu Amerika ne Buyindi?

Bw’abeera nga yali alumirirwa abantu be lwaki yabalekawo mu biseera by’olutalo n’atabakuuma?