Town Clerk wa Wakiso abakozi gwe baakoledde akabaga okwekulisa azziddwa ku mulimu

By Rogers Kibirige

AKULIRA abakozi ba Gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso Luke Lokuda azzizza Town Clerk wa Wakiso Town Council, Cox Ssempebwa eyabadde akasukiddwa wabweru ku mulimu.

Ssempebwa1 350x210

Mu bbaluwa ya Lokuda gye yawandiikidde Ssempebwa ng’emuzza ku mulimu, egamba nti nga bwe bakkaanya n’akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ebyettaka mu Wakiso ng’ate Ssempebwa y’omu ku bajulizi, okumuyimiriza ku mulimu kijja kutaataaganya obujulizi obwetaagibwa n’okutiisa abajulizi abalala abasobola okuyamba akakiiko k’omulamuzi Bamugemereire.

Wano Lokuda we yasinzidde n’azza Ssempebwa ku mulimu.

Kyokka ku Mmande yagenze okutuuka mu ofiisi n’asanga nga ne Town Clerk omupya Livingstone Kasibante ali mu ofiisi akakkalabya mirimu nga Ssempebwa talina w’akolera.