Bannakenya bakedde kukuba kalulu k'Obwapulezidenti

By Musasi wa Bukedde

BANNAKENYA bakedde enkya ya leero okweyiwa mu bifo ebironderwamu okukuba akalulu wakati mu kwerinda okw’amaanyi n’obunkenke obutuusizza abamu ku bannansi okwamuka eggwanga eryo ne beesogga Uganda ne Tanzania.

130304025153kenyaelectionsvotinghorizontallargegallery 350x210

Okulonda kutandika ku ssaawa 12 ez’oku makya mu bifo 40,883 ebironderwamu abalonzi 19, 687,563 gye basuubirwa okulondawo ku Uhuru Kenyatta ne Raila Odinga, ani Pulezidenti wa Kenya addako.

Abapoliisi n’abamagye bayunguddwa mu bungi ku nguudo mu bibuga ebinene nga Nairobi, Mombosa, Kisumu, Nakuru, Naivasha, Eldoret,  Kericho n’ebirala okutangira embeera yonna ey’effujjo n’obumenyi bw’amateeka.

Uganda ne Tanzania nazo zinywezezza ebyokwerinda ku nsalo ne Kenya era omuwendo gwa Bannayuganda n’Abatanzania abasala okuyingira mu Kenya gwesaze kinene nnyo.

Bannayuganda abakolera mu Kenya baakomyewo mu bungi ku Ssande n’eggulo ku Mmande okwewogomako ebiyinza okuddirira singa wabaawo obuttaakanya ku binaava mu kalulu Omwogezi wa poliisi ya Uganda, Asan Kasingye yagambye nti Bannayuganda abakolera mu Kenya n’abantu ab’enjawulo baatandise okuyingira Uganda mu bungi ku wiikendi n’eggulo ku Mmande.

Yategeezezza nti poliisi ng’eyita mu kitongole kyayo ekikessi eri mu kulondoola bonna abayingira eggwanga okulaba nga tewali bamenyi b’amateeka bayingira mu ggwanga.

Gavumenti ya Uganda yataddeko akakiiko nga kakulirwa Minisita w’Ensonga Ezebweru Sam Kuteesa okukola enteekateeka ku biyinza okuddirira singa bitabuka e Kenya.

Akulira akakiiko k’ebyokulonda e Kenya Wafula Chebukati yategeezezza nti omuwanguzi waakulangirirwa ng’Olwokusatu terunnaziba n’asaba Bannakenya okukuuma obukkakkamu.