Muleete abalumiriza Sheikh Mwanje okutemula Maj. Kiggundu - Kkooti

By Musasi wa Bukedde

OLUDDA oluwaabi mu musango gwa Sheikh Yahya Mwanje lulagiddwa okutandika okuleeta abajulizi abamulumiriza okutta Maj. Muhammad Kiggundu obutasukka August 22, 2017.

Wata 350x210

Kino kiddiridde kkooti Enkulu okuyita fayiro ya Mwanje eggulo, ye n’aba bodaboda mwe bavunaanibwa emisango gy’obutemu mu maaso g’omulamuzi Wilson Kwesiga ne bagyegaana mu butongole.

Mwanje avunaanibwa ne Muhammad Buyondo ne Abdul Wahaab Ssendegeya abavuzi ba bodaboda ku siteegi ye Nsangi ne Musa Ssekandi omusuubuzi w’e Masanafu.

Bano bagambibwa okukuba amasasi Maj. Kiggundu eyali bba wa maama Fiina n’omukuumi we Sgt. Steven Mukasa agaabatta nga November 26, 2016 mu kabuga k’e Masanafu.

Obumu ku bujulizi oludda oluwaabi bwe luleeta bulaga nti ku lunaku Kiggundu lwe yattibwa, Mwanje yalabibwako ng’alawuna ku Northern By pass okumpi n’awaali ettemu.

Kyokka oluvannyuma lw’ettemu okubaawo, essimu ya Sheikh Mwanje yavaako olunaku lwonna.

Obujulizi obulala bulaga nti abakulembeze abenjawulo mu Busiraamu baaweereza Sheikh Mwanje obubaka ku ssimu nga bamwegayirira okukwatibwa Maj. Muhammad Kiggundu ekisa n’obutagenda mu maaso na nteekateeka ze ez’okumutta.

Oluvannyuma lwa Kiggundu okuttibwa, abakugu mu poliisi baakebera essimu ya Sheikh Mwanje ne basangamu obubaka buna nga bwonna bwegayirira Mwanje obutatta Kiggundu.

Ate ku Abdu Wahab Ssendegeya ne Muhammad Buyondo, kigambibwa nti baali mu kabinja akatigomya Kampala nga bano Mwanje be yeeyambisa okutta Kiggundu era baateranga okwogeraganya ku ssimu. Kkooti eyagala abajulizi mu bwangu.