Abaana ba Zigoti abawakanya olumbe bagenze wa Kabaka

By Kizito Musoke

ABAANA ba Enock Kisuule Kato Zigoti, beeyawuddemu ku by’okwabya olumbe lwa kitaabwe.

Zigoti 350x210

Kati ensonga bazitutte wa Ssaabasajja gwe baloopedde ennono bwe zaatyoboddwa mu kutegeka olumbe ne bawera n’okuwawaabira omukulu w’ekika n’abalala bonna be yakolaganye nabo.

Mu kiwandiiko abaana kye baakwasizza omuwandiisi omukulu owekyama owa Ssaabasajja ku Lwokuna nga August 10, 2017, kwabaddeko omukono gwa Eria David Mulaliira, mutabani w’omugenzi, omukulu w’oluggya era omukulu w’omutuba gwa Eria Mulaliira.

Abalala abaafunye ku kiwandiiko kuliko; Katikkiro wa Buganda, Denis Walusimbi minisita w’eby’obuwangwa, Wamala Gaganga omubeezi owe by’obuwangwa, Omutaka omukulu wakasolya, Omukulu w’olunyiriri lwa Semmanda n’abenju y’omugenzi Enock Kisuule Kato.

Abaana beemulugunyizza ku bbaluwa eyawandiikibwa Katikkiro nga August 8, 2017 gye bali ne bategeeza nti yali ekontana n’ennono era ejja kukola kinene mu kwabuluza enju y’omugenzi.

Baategeezezza nti bwe baali mu lukiiko ne minisita w’e byobuwangwa, Denis Walusimbi yabategeeza nga bwe yali tayinza kugendera ku bulaame bwa mumwa, era n’agaana omunywanyi w’omukago Abiyasali Ssebuggwawo okwogera n’amusaba ekiraamo.

Kyokka beewunyizza okulaba nga Omusika Mmengo gwe yabalondedde okuba nga wa mumwa, kuba tewali kiraamo.

Kimanyiddwa nti waliwo n’ennono egobererwa mu kulonda omusika, omugenzi bw’aba teyalaama, kyokka byonna tebyakoleddwa.

Ebbaluwa era baagirabyemu okuboola okwenkukunala, kuba yabadde etegeeza nti ab’ennyumba si be baawaaba, so nga be baawaaba nga beegasse ku b’olunyiriri, Omutuba w’essiga.

Eby’obugagga by’omugenzi okuba nga tebyalambikiddwa ngeri gye binaakuumibwamu kyewuunyisa.

Beebuuzizza n’omusumisi gye yavudde, kuba omukulu w’olunyiriri alina okulonda omusumisi yabawandiikidde ng’abategeeza nga bw’atajja kusobola.

Beemulugunyizza nti Mmengo baagitegeezaako butegeeza ng’olumbe bwe luyimiridde, kuba baali bakitegeddeko nti baayitibwa.

MMENGO ESINDISE ANAAGIKIIKIRIRA MU LUMBE

Mu bbaluwa ya Katikkiro gye yawandiikira ab’enju y’omugenzi, Eria Mulaliira e Mayirye-Busujju nga August 7, 2017 mwe yakkiririza olumbe okwabizibwa, yabategeeza nga bwabasindikidde omumyuka wa Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Ahmed Lwasa abeerewo mu linnya lya Katikkiro n’Obwakabaka.

Ebbaluwa yategeeza nti wadde omugenzi Zigoti teyalaama kyokka yategeeza abantu abenjawulo nti omwana we Enock Ssenyonga y’alimusikira. Abaasaba okuyimiriza olumbe siba mu nnyumba ya mugenzi, wabula ba luggya n’olunyiriri lw’omugenzi.

Ensonga z’ebyobugagga by’omugenzi ezaawaabwa mu kkooti zisobola okugenda mu maaso, kyokka nga kino tekiremesa lumbe kwabizibwa.

Abamu ku baali bawandiise ebbaluwa y’okuyimiriza okwabya olumbe ate be bamu ku baali mu nkiiko exskkiriza lugende mu maaso.

Ensonga endala eyaweebwa mwalimu okuba ng’omukulu wa Kasolya ensonga yali yamala dda okuzeetegereza era n’olumbe n’alwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka.

Olumbe lwa Zigoti lugenda kwabizibwa leero ku Lwomukaaga mu maka ge agasangibwa e Zigoti.