Muka Mugabe akubye nnalulungi w'e South Afrika

By Musasi wa Bukedde

MUKA Pulezidenti we Zimbabwe, Robert Mugabe bongedde okumulumiriza nga bwe yagenze mu South Afrika ku bugenyi obutongole wabula n’akuba omuwala nnalulungi ayolesa emisomo n’amutuusaako ebisago.

Httpoaolcdncomhssstoragemidas1009b5a22804a4120036724d59e8fc31205567164rts19old 350x210

Grace Mugabe yamaze kusisinkana muwala ono ng’ali ne batabani b’omukyala ono babiri mu wooteeri Sandton, South Afrika.

Omukutu gw’amawulire ogwa BBC, gwategeezezza nti wadde Grace Mugabe tannaba kuvunaanibwa mu butongole, naye yakubye omuwala ayolesa emisono ow’emyaka 20 nga bali mu wooteeri mu kibuga Johannesburg.

Kyokka aboobuyinza bakyatabuddwa okuvunaana Grace Mugabe kuba obugenyi bwe yabaddeko butongole era nga muntu munene gw’otolina gamala gavunaana ku poliisi.

Ensonda zaategeezezza nti bannamateeka ba Muky. Mugabe n’aboobuyinza mu South Afrika baabadde mu nteeseganya.