Ensonga lwaki omuyimbi David Lutalo ne maneja we baakwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

OMUSUUBUZI w’omu Kampala afunzizza omuyimbi David Lutalo ku poliisi n’amuggyako ensimbi ze obukadde 40 ze yamuwa okumukolera ekivvulu mu September w’omwaka guno.

Amate 350x210

Ekivvulu kino ekituumiddwa GYENVUDDE WA LUTALO, kibadde kitegekeddwa okubeera ku Freedom City nga September 16, kyokka ssente zino yazimusasudde nga August 1, 2017.

Ku lunaku olwa September 16, kigambibwa nti Lutalo abadde alina ekivvulu ekirala mu Amerika nga tajja kusobola kubikwataganya, olwo eyali amusasudde n’afuna okutya nti bano baagala kumukubirayo.

Omusuubuzi ayitibwa John Kabanda, ye yaloopye Lutalo ne maneja we ku poliisi e Katwe ne bakwatibwa kyokka oluvannyuma ne bateebwa nga bamaze okumusasula ensimbi ze.

Kabanda agamba nti, maneja wa Lutalo, Mike Kaddu ye yamuguza ekivvulu kya Lutalo ku bukadde 45 wabula n’abasasulako obukadde 40,000,000/- mu mpeke nga yazissa ku akawunti ya Kaddu.

Okuzzaayo ssente zino, poliisi yasoose kukwata maneja wa Lutalo kyokka n’omuyimbi Lutalo bwe yazze okumununula, naye ne bamukwata.

Wano poliisi we yasaliddewo okuwerekera Kaddu mu bbanka n’aggyayo ssente ze baaleese ku poliisi ne baziddiza John Kabanda.

“Bwe natuukirira Lutalo nga njagala okugula ekivvulu kino yankwasa Kaddu ne maneja we omulala Ivan Lukwago ne bahhamba nti ebintu okutambula nsooke nsasule ekifo 7,500,000/- ne nzisasula era zino naziteeka ku akawunti ya Kaddu. Lutalo obwedda amaziga gaagala kumuyitamu.

 babanja utalo nga babala ssente ku poliisi u kkono ye ohn abanda ne looya we uhame Ababanja Lutalo nga babala ssente ku poliisi. Ku kkono ye John Kabanda ne looya we Muhame.

Era ye yalagidde Kaddu agende mu bbanka aggyeyo ssente, olwo kwe kumuwa omuserikale n’aggyayo ssente ze baaletedde mu kibookisi.

Wabula Kabanda yasoose kuzigaana ng’agamba nti ekitono ennyo ayagala obukadde 60 olw’ebyo byonna by’asaasaanyizzaako omuli ne ssente z’obulango.

Munnamateeka wa Lutalo, Haruna Kagodo yeeremye n’agamba nti omuntu we talina gy’ayinza kuggya ssente ndala.

Munnamateeka wa Kabanda, Alam Muhame, yalemeddeko n’agamba nti ssente balina okuzongerako wabula oluvannyuma Kabanda yakkirizza n’akwata ssente kyokka n’ategeeza nti akyabanja.

Lutalo yayombesezza Kabanda n’agamba nti, “omusajja ono alina omuze ogw’okusibisa abayimbi ng’ayita mu kubatega ssente.”

Yanenyezza Kabanda nti yakola ensobi bwe yatandika okulanga ekivvulu nga tebannakkaanya ku nnaku za mwezi.

Mu bamu ku bayimbi Kabanda b’azze atwala mu kkooti n’abasibisa kuliko, Gerald Kiweewa, Vincent Ssegawa, Abdu Mulaasi, Mathias Walukagga, ne Gravity Omutujju nga bano bonna bamuwanda lulusu.

Omusango guli ku fayiiro SD/ REF /33/12/08/2017. Lutalo y’omu ku bayimbi abasinga ettutumu ennaku zino olw’ennyimba ze ezikwata abadigize omubabiro.

Ye yayimba Kapaapaala olwamuleeta mu nsiike y’okuyimba kyokka omwaka guno n’oguwedde aleese ennyimba nnyingi ezinyuma omuli ‘Kwasa’, ‘Gunsitula’, ‘Saabulula’ n’endala.