Sheikh Kamoga ne banne basibiddwa mayisa lwa butujju

By Musasi wa Bukedde

Sheikh Muhammad Yunus Kamoga kkooti Enkulu emuwadde ekibonerezo kyakusibwa obulamu bwe bwonna bw'asigazza ku nsi ng'ali mu kkomera olw'okwenyigira mu bikolwa eby'obutujju.

Kamoga1 350x210

Muganda we  Murta Mudde Bukenya, Siraje Kawooya, Fahad Kalungi nabo basibiddwa obulamu bwabwe bwonna ate Abdusalam  Ssekayanja ne Kakande Yusuf ne basibwa emyaka 30

Abalamuzi basatu abakulembeddwamu Ezekiel Muhanguzi bagambye nti  Kamoga ne banne okubasiba obulamu bwabwe bwonna baali bakulembeeze mu Busiraamu abaalina okusomesa okwagala so ssi kwawula. 

Bagambye nti enkung'aana ze baakolanga, ebigambo bye baayogera n'enkalala z'abantu ze baakola zavaako abantu abo okuttibwa n'okuleeta okutya mu bantu era ne bagamba abaleeta embeera eno basaana kuggyibwa mu bantu.

Ekibonerezo ekibaweereddwa kiviriddeko abantu baabwe okuyungula amaziga nga balaga obutali bumattivu nengeri kkooti gyeyasazeemu omusango. 

Abooluganda bakedde kweyiwa ku kkooti

Ab'eng'anda n'emikwano gyAbasiraamu bakedde kweyiwa ku kkooti era abamu bazze basibye eby'okulya mu buveera. 

Eggulo abalamuzi bejjeerezza Kamoga omusango gw'okutta Sheikh Hassan Kirya ne Mustapha Bahiga wabula ne babasingisa ogw'obutujju.

Obujulizi bwalaze nti abawawaabirwa baayogeranga ebigambo ebitiisatiisa okutta n’okutuusa obulabe ku Basiraamu bannaabwe nga ekiruubirirwa kyabwe kyali kyakutondawo kutya mu mutima gyabwe olwo balyoke batuukirize ekigendererwa kyabwe eky’obutujju.