Bbulooka asse munne lwa bukadde 120

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

BABBULOOKA bafunye obutakkaanya ku ngabana ya ssente omu n’asogga munne ekiso n’amutta.

United1 350x210

Baasoose kugoba ddiiru ya kutunda ttaka n’eyitamu ne bafuna enjawulo ya bukadde 120 nga baabadde balina okuzigabana abantu bana, kyokka ne babikaayaniramu era okukkakkana ng’omu asozze munne ekiso mu kifuba ekimusse.

Eyattiddwa ye Mathias Atuhairwe, abadde mukozi mu kkampuni entunzi y’e ttaka eyitibwa Dream Holdings ku lw’e Gayaza mu kifo ekiyitibwa ku Musanvu.

EBYABADDEWO

Atuhairwe ne banne abalala basatu baafuna ddiiru okutunda ettaka era ddiiru n’ekutuka.

Ssente zaatuukidde wa Joram, n’akubira banne bamusange e Kisaasi mu Ddungu Zooni bagabane ku Mmande ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro.

Atuhairwe yavudde e Busiika gye yabadde n’agenda butereevu e Kisaasi gye yasisinkanye banne abalala ne beegatta ku Joram.

Kigambibwa nti Joram yabadde ne mmotoka era banne abasatu mwe yabatadde ne batandika okuteesa ku ngabana.

Wabula baalemeddwa okukkaanya ku mutemwa buli omu gw’alina okufuna era ekyavuddemu kulwanagana.

Mu kavuvuhhano kano, Joram eyabadde alinga eyeetegese, yaggyeyo ekiso mu nsawo n’afumita Atuhairwe ku mutima n’aguyuza.

Ekyaddiridde kwesansabaga mu kabuguutano kano, Joram yasimbudde mmotoka n’adduka nga gwafumise agivuddemu agudde wansi avaamu omusaayi omuyitirivu.

Eyafumise ekiso ye yadduse ne ssente nga n’okutuusa eggulo yabadde tannakubikako kimunye.

Wabula abatuuze baataayizza omu ku babbulooka bano ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y’e Kisaasi nga yajja okubayamba okuzuula Joram eyasse.

Bbulooka omulala naye yafunye ebisago n’atwalibwa ku ddwaaliro lya Kardic e Bukoto kyokka teyabandaddewo n’adduka.

Akulira kkampuni ya Dream Holdings, Atuhairwe mw’abadde akolera, John Matovu yategeezezza nti omugenzi abadde amaze ennaku ssatu nga tajja ku mulimu.

Omu ku mikwano gy’omugenzi, Nasser Bunkeddeko yategeezezza nti abantu abaabadde ne Atuhairwe tebamanyiddwa era ne ddiiru gye baabadde bagoba babadde bagimanyi bokka nga bwe baagibaddemu.

NNAMWANDU ALAAJANYE

Omugenzi alese nnamwandu ow’olubuto olusulirirwa okuzaalibwa n’abaana musaanvu okuva mu bakazi ab’enjawulo.

Nnamwandu Jane Nalima yagambye nti okuva omwaka bwe gwatandika bafunye ebizibu nga baasoka kubabba bintu bya muduuka bya bukadde buna ate ne babalumba awaka be babba ebyapa by’ettaka n’obukadde 15, ng’abadde alabirira abaana be n’aba baggya be.