Nadduli agugumbudde abalidde mu NRM abafunvubidde okugisuula

By Musasi wa Bukedde

Nadduli agugumbudde abagaggawalidde ku Mulembe gwa Museveni kyokka ne bagaana okuwagira enteekateeka ze

Hajinaddulingawayaamunabakulembezebenakasongola 350x210

BYA SAMUEL KANYIKE

MINISITA atalina mulimu gwa nkalakkalira, Haji Abdul Nadduli alumbye abantu abagaggawalidde ku mulembe gwa NRM kyokka ne bagirima empindi ku mabega n’abalaalika nti bw'egwa nabo bajja kugenda nayo.          

“Abantu naddala ba “Westerners” abalidde ne bagaggawala n’okusoma ne balya ebifo ebisava ku mulembe gwa Museveni ate ne mumutema enteega mukimanye nti bw'agwa mujja kugenda naye n’obugagga bwe mufunye bugende n’eyabubatuusaako gwe mulwanyisa,” Haji Nadduli bwe yagambye.            

Yasinzidde mu Nakasongola 'Town Council Hall' gye yasisinkanye olukiiko lwa disitulikiti olwa NRM n’agamba nti ye nga Omuganda alekawo Baganda banne n’ayiggira Museveni obululu olw’ebirungi by'akoze ne by'amulabamu kyokka abantu abamu gy’ava ne batabiraba ne baagala kumugoba n’agamba nti kikyamu.           

Yagugumbudde n’ab'ebitongole by’ebyokwerinda abazzeemu okukwata abantu kkooti be yabadde eyimbudde n’agamba nti baagiyisizzaamu olugaayu n’okuswaza gavumenti eyaggyawo obusibiramubbwa okutuuka okwambula omuntu atalina mmundu nga bamussa mu mmotoka.         

Yagasseeko nti n’Abasiraamu si basanyufu olw’okukijjanya Basiraamu bannaabwe mu buli kasonga akabeera kaguddewo.         

Haji Nadduli yasekeredde abakulembeze mu disitulikiti ezaatondebwawo abawakanya okukwata ku Ssemateeka n’agamba nti  singa tebakwata ku mateeka tebandibaddewo n’abasoomoza baddeyo gye baava oba kibi ekyakolebwa.            

Ssentebe wa muvumenti mu disitulikiti ya Nakasongola Christopher Nkoyooyo yategeezezza nti obukiiko bwa NRM obw’abantu 30 obwalondebwa okuva mu byalo busaana okuzzibwamu amaanyi naddala mu by’ensimbi busobole okusaggulira ekibiina obuwagizi.      

Yagambye nti ebisuubizo ebitannatuukirizibwa omuli amasannyalaze pulezidenti ge yasuubiza okutwala ku Nakasongola SS emyaka musanvu egiyise tegatuukanga, amasomero, okukola ku butakkanya wakati wa Menge ne Ssabaluuli, ensonga z’ettaka n’ebirala.