Besigye, Ingrid n'abalala 8 bavunaaniddwa okwonoona ebintu bya Gav't

By Ali Wasswa

Besigye, Ingrid Tulinawe n’abalala omunaana baatwalibwa e Kabaale gye baggyiddwa okuleetebwa mu kkooti e Rukungiri ate nga Amuriate ne Munyagwa babadde bakuumirwa ku poliisi y’e Mbarara gye baggyiddwa nabo okutwalibwa mu kkooti ku ssaawa 8:00.

Besigyemukaguli 350x210

EBYOKWERINDA byanyweezeddwa ku kkooti y’e Rukungiri, Col. Kizza Besigye ne banne bwe baabadde baleetebwa mu kkooti okuvunaanibwa emisango gy’okwonoona ebintu bya Gavumenti omuli mmotoka, okukuba olukuηηaana olutali mu mateeka n’okujagalaza abantu.

Bano baakwatibwa ku Lwokubiri lwa wiiki eno e Mbarara bwe baali bawerekeddeko Patrick Amuriate ne Mubarak Munyagwa Mugaatigwabbata abanoonya akalulu k’obwapulezidenti bwa FDC abaali bakubye olukuηηaana mu kibuga Mbarara.

Besigye, Ingrid Turinawe n’abalala omunaana baatwalibwa e Kabaale gye baggyiddwa okuleetebwa mu kkooti e Rukungiri ate nga Amuriate ne Munyagwa babadde bakuumirwa ku poliisi y’e Mbarara gye baggyiddwa nabo okutwalibwa mu kkooti ku ssaawa 8:00.

Ku ssaawa 4:00 ez’oku makya, omulamuzi Julius Barore owa kkooti y’e Rukungiri, ayongezzaayo omusango guno okutuusa nga February 20, 2018 lwe gunaddamu okuwulirwa era ne bateebwa ku kakalu ka kkooti.

Oluvannyuma lw’okuwulira omusango guno, batwaliddwa mu kkooti e Mbarara okuwulira omusango gw’okukuba oluku- ηηaana olumenya amateeka omwafi ira n’omuntu ku ssaawa 8:00.

Abaserikale ba poliisi n’abali mu ngoye ezaabulijjo baayiiriddwa mu bungi ku kkooti okukuuma obutebenkevu n’okukakasa nti tewabeerawo kavuyo konna.