Omusujja ogw'obulabe guzinze Kiboga ne Mityana: Gwakatta babiri

By Muwanga Kakooza

MINISITULE y’ebyobulamu etegeezezza nti waliwo omusujja ogw’obulabe ogukwata ebisolo n’abantu ogubaluseewo e Mityana n’e Kiboga nga gwakatta abantu babiri.

Janeruthaceng703422 350x210

Omusujja guno guyitibwa   ‘’Rift Valley fever’’era obubonero bwago kuliko okuziba amaaso, okulumwa omutwe, okwerabira, okusesema, okufuluma obubi obulimu omusaayi n’okuva omusaayi mu kamwa,okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa akulira eby’obujjanjabi mu ggwanga Dr. Charles Olaro.

E Kiboga  eyafudde abadde abeera ku kyalo Gogonya mu muluka gw’e Kibiga e Kiboga era omusujja gwamukwata November 14, 2017 n’atwalibwa mu ddwaliro oluvannyuma n'afa ng’okwekebejjebwa okwamukoleddwaako abasawo bazuudde nti gwe gumusse.

E Mityana omusajja ow’emyaka 69 nga mulunzi yakwatiddwa omusujja n'atwalibwa mu ddwaaliro n'afiirayo. Ono abadde mutuuze ku kyalo Gombe – Mwalo mu muluka gw’e Nama mu ggombolola y’e Busimbi ku lubalama lw’ennyanja Wamala. Yatwaliddwa mu ddwaliwo e Nama n’afiirayo nga November 20.

Omusujja gusasaanyizibwa singa omuntu akwata mu musaayi gw’ebisolo ebirwadde ng’abisala oba okubizaazisa. Era abalunzi, abasawo b’ebisolo  n’abakola mu bucca balina okuba abegendereza.

Gavumenti etegeezezza nti esindise abakugu okusomesa abantu n’okulaba ng’obulwadde buno tebusasaana.

Abasala ebisolo eby’okulya basabiddwa okusooka okwebuuza ku bakugu , n'abantu bakubiriziddwa okwewala okulya ennyama y’ebisolo ebifudde endwadde ze batamanyi.

Abalina obulwadde buno temubakwasaako ngalo zitali mu giraavu. Era abantu basanidde okweyigiriza okunaaba ennyo mu ngalo ne ssabbuuni.