Ettemu erikyase lyenyigirwamu n'abaserikale - Minisita Tumwine

By Kizito Musoke

GEN. Elly Tumwine agambye nti ebikolwa by’ettemu erikyase mu ggwanga, bakizudde nga mu bitundu ebimu lyenyigirwamu abaserikale.

Mini 350x210

Kyokka agumizza eggwanga nti ettemu bajja kulimalawo kubanga abamu ku beenyigira mu bikolwa ebyo bamaze okukwatibwa n’abalala babalinnya kagere.

Yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Media Centre eggulo n’ategeeza nti waliwo abaserikale abazze bakwatibwa n’abalala bakyanoonyezebwa oluvannyuma lw’okubazuula nga bakolagana butereevu n’abamenyi b’amateeka.

Tumwine ye Minisita avunaanyizibwa ku butebenkevu. Ye yadda mu bigere bya Henry Tumukunde.

Yabadde alambulula ebikoleddwa ekitongole kye mu myaka ebiri egya “Kisanja Hakuna Muchezo” ekyatandika mu 2016.

“Waliwo abaserikale baffe abazze bakolagana n’abamenyi b’amateeka naddala mu Poliisi, ebitongole ebikessi n’abatono ab’amagye ga UPDF era abamu tukyabanoonyerezaako”, bwe yagambye.

Ku by’okuwamba abantu n’okusaba ssente gattako ettemu ebiyitiridde, yagambye nti bikolebwa obubinja bw’abamenyi b’amateeka abalina ekigendererwa ky’okuteeka eggwanga ku bunkenke n’okwagala okufuna ssente.

Kyokka yagumizza abantu baleme kutya nnyo kubanga ebitongole ebikuuma ddembe birina obusobozi okukola ku buli kika kya bumenyi bw’amateeka.

Waliwo abatemu abakwatiddwa ekiraga nti balina obusobozi era bakizudde ng’abamu balina akakwate n’abayeekera ba ADF.

Yagambye nti ekimu ku bikaluubiriza okubakwata, butabeerawo nsimbi zimala n’engeri obumenyi bw’amateeka gye bukyukakyuka buli kiseera.

N’agamba nti ssente ze basaba okuweebwa buli mwaka bafunako ekitundu kimu kyakuna.

Kyokka kino nabo ng’abakola ku butebenkevu, bakitegeera kubanga bakimanyi nti eggwanga teririna busobozi bukola ku byetaago byonna omulundi gumu.

Wabula n’agattako nti ekimu ku bye beenyumirizaamu kwe kuba ng’abaserikale bongedde okufuna obukugu nga bayita mu kutendekebwa.

Ku bituukiddwaako mulimu okussaawo ettendekero lya Poliisi e Bwebajja, okutwalira awamu eggwanga litebenkedde era ne kamera eziketta zimaze okuteekebwa mu bifo ebimu ebya Kampala.

N’agamba nti okweyongera kw’amawulire okwanika ebikolobero kye kirowoozesa abantu nti obumenyi bw’amateeka bususse, kyokka ng’okutwalira awamu embeera tetiisa nga bwe kirabika.

“Edda we twabeeranga mu kyalo twalowoozanga nti Abaganda bafa nnyo bagenda kuggwawo. Ekyo kyali bwe kitya kubanga twawuliranga ebirango ebibika abafu ku leediyo nga kumpi bonna Baganda.

Kati leediyo zaayala, twatandika okuwulira nga n’ab’ewaffe babika nnyo abantu baabwe ne tulyoka tumanya nti ffe tetwalina mukutu gwa kubikirako.

Kati buli mukutu gw’amawulire gwogera ku ttemu ne kirowoozesa nti lisusse, nga ffe mu Ankole bwe twalowoozanga nti Abaganda bafudde baweddewo nga tusinziira ku birango ku leediyo,” bwe yannyonnyodde.

Mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja, Gavumenti yaakwongera okuteeka kamera mu ggwanga ng’etandikira Kampala n’ebitundu by’e Masaka kubanga kyeraze nti obumenyi bw’amateeka gye businga.

Bwe banaamala Kampala, yagambye nti baakuddako munisipaali ez’enjawulo bateekeyo kamera. Era bajja kutwala mu maaso omulimu kw’okuzimba eddwaaliro ly’amagye e Mbuya.

Yasuubizza bwe bagenda okuddaabiriza enkambi z’amagye ne poliisi okuli Katabi, Masaka, Moroto n’e Bombo. Era batadde ssente mu bajeti okusasula abaazirwanako ababanja.

Ate M oses Kezaala ow’ekitongole ekivunaanyizibwa okuteekerateekera eggwanga ekya National Planning Authority yasiimye UPDF n nti ky’ekitongole ekisinze okussa mu nkola ebintu bye bakkaanyaako.