Amerika egenda kwongeza obuyambi bw'ewa Uganda okugula eddagala lya Siriimu

By Muwanga Kakooza

AMERIKA etegeezezza nti egenda kwongeza obuyambi bw’ensimbi z’ewa Uganda okugula eddagala eriweweeza Siriimu butuuke ku buwumbi buwumbi 3,600 kuba basanyufu n’engeri (Uganda) gy’ekozesezza ensimbi ezigiweebwa.

Usambassadortougandadeborahmalacmakesatoastswithpresidentmuseveniatstatehouserecently 350x210

Amerika kati ewa ewa Uganda obuwumbi 66 buli mwaka okugula n’okubunyisa eddagala eriweweeza Siriimu Kyokka ng’etegeka okuzongeza mu myaka esatu.

Amerika ekolagana  butereevu ne minisitule y’ebyobulamu ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kugula n’okubunyisa eddagala mu ggwanga ekya ‘’National Medical Stores’.

Akulira ekitongole kya Amerika ekikola ku nkulaakulana, USAID,  Mark Meassick bino yabitegeezezza ng’asisinkanye sipiika Rebecca Kadaga okumunnyonnyola ku ntegeka z’ekitongole kino.

Yagambye nti Amerika ng’eyita mu kitongole egenda kuyamba Bannayuganda okutumbula eby’obulamu, eby’okusoma, ebyamasannyalaze n’okutereeza obulamu bwa Bannabyalo.

Buli mwaka Amerika ewa Uganda obuyambi bwa bukadde bwa ddoola 400 ( eza Uganda ezisoba mu buwumbi 1,200).

Obuyambi obusinga bubadde buyita mu bitongole bya bwannakyewa kyokka Amerika etandise n’okubuwa gavumenti butereevu.

Yagambye nti mwennyamivu kuba Amerika tesobodde kuyamba nnyo kutumbula byabulimi kuba Minisitule y'ebyobulimi erimu pulogulaamu nnyingi ezitakwagana. Kuno kuliko; NAADS, Operation Wealth Creation, okuyamba abavubuka n’endala.

Kyokka n'asuubiza okwongera okuyamba okutumbula eby’okusoma kw’abaana abawala mu Ssiniya.

Kadaga yasabye Amerika okwongera okuyamba Uganda naddala mu kutumbula eby’okusima obugagga bw’omu ttaka.