Okukuza olunaku lw'Abajulizi: Museveni asabye Abasiraamu nabo okujjukira Abajulizi abaafiirira eddiini yaabwe

By Musasi wa Bukedde

Okukuza olunaku lw'Abajulizi: Museveni asabye Abasiraamu nabo okujjukira Abajulizi abaafiirira eddiini yaabwe

Whatsappimage20180603at115224am 350x210

Okukuza olunaku lw'Abajulizi : Laba ekiri e Namugongo n'e Nakiyanja.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ne mukazi we era Minisita w'Ebyenjigiriza n'Emizannyo, Janet Museveni beetambye mu kusaba kw'okujjukira Abajulizi Abakristaato abaafiiririra eddiini yaabwe mu kiggwa e Nakiyanja.

Abanene abalala abeetabye mu kusaba ku kiggwa e Nakiyanja kubaddeko Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, eyali Katikkiro wa Uganda, Amama Mbabazi n'abakulu abalala.

Museveni mu kwogera kwe asoose kukubagiza Abakristaayo olwokufiirwa eyali Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda, Mpalanyi Nkoyoyo n'amwebaza olw'omulimu amakula gwe yakola okuzimba myuziyamu y'ekiggwa ky'Abajulizi Abakristaayo e Nakiyanja.

Abasabye okwongera okujjumbira olunaku luno bajjuze ekifo kyonna kuba emyaka egyemabega tebabadde bajjumbize okufaananako bannaabwe Abakatoliki.

Yeeyamye okwongera okussa ssente mu kifo ky'Abajulizi Abakristaayo e Nakiyanja okwongera okukikulaakulanye nakyo kyakayakane okufaananako eky'Abakatoliki e Namugongo.

Museveni olumaze okwogera n'ayolekera ekiggwa ky'Abajulizi Abakatoliki e Namugongo.

Eno asoose kwetonda olw'okutuuka ekikeerezi n'abategeeza nti bulijjo asookera Namugongo naye leero mu nkola y'obwenkanya yasazeewo kusookera Nakiyanja.

Asomesezza n'agamba nti ababuulizi n'abasumba abawoza ensi tugiyitamu buyisi bakyamu! Ensi tulina okugibeeramu nga bwe tukola n'okubeera mu bulamu obulungi kuba tuwangaalirako ddala, tetuli bubeezi bagenyi.

Ajulizza kitaawe omugenzi Amos Kaguta eyawangaala emyaka 96 n'agamba nti singa yali mugenyi teyaaliwangadde myaka egyo gyonna - ekitegeeza nti tulina okukola nga tukyali mu bulamu bw'ensi eno wadde nga kituufu teri agenda kuwangaalirako lubeerera.

Asabye Abasiraamu nabo okujjukira Abajulizi abaafiirira eddiini yaabwe.

Pulezidenti yeebazizza abakuumaddembe olw'okukumanga abantu entakera buli lwa 3/June/ ne batafuna buzibu bwonna.