Aba UNEB basabiddwa okukyusa ebigezo

By Musasi wa Bukedde

MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza, Muky. Rosemary Nansubuga Sseninde asabye ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB kikyuse mu ngeri ebibuuzo by’eggwanga gye bibuuzibwa bibe ng’essira libissa ku kulowooza mu kifo ky’okukwata obukusu.

Lwana 350x210

Mu kiseera kye kimu, Ssaabawandiisi wa UNEB, Daniel Nokrach Odongo ayagala okugezesa obusobozi bw’abaana mu kusoma bwino kukolebwe wonna mu ggwanga.

Bino baabyogeredde mu musomo ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB gwe kyategese okulaga bye kyazudde ku busobozi bw’abaana okusoma bwino.

Omusomo guno gwabadde ku wooteeri ya Africana eggulo ku Lwokusatu. Minisita Sseninde ebigambo bye eri bannabyanjigiriza byabaddemu obukambwe bwe yategeezezza nti abasomesa bennyini be beetaaga okusooka okusomesebwa bayige okusomesa abaana okusoma bwino.

Yagambye nti kati abasinga basomesa baana kuyita bigezo era bassizza nnyo omutindo gw’ebyenjigiriza nga buli kiseera bawa abaana ebigezo ne yeebuuza nti olwo basomesa ddi? Wano we yasinzidde okusaba ekitongole kya UNEB kikyuse ku ngeri ebibuuzo gye bibuuzibwa essira lissibwe ku kulowooza si kukwata bukusu.

Mu kusooka, Ssaabawandiisi wa UNEB, Odongo yategeezezza nti okunoonyereza kwe baabadde banjula kwakolebwa mu disitulikiti 27 zokka n’asaba minisitule y’ebyenjigiriza esobozese ekitongole kino okugezesa abaana mu disitulikiti zonna eza Uganda okulaba we batuuse mu kuyiga okusoma bwino.

Ku kino minisita Sseninde yeeyamye okutuusa okusaba kwa UNEB okulaba ng’ekitongole kifuna ensimbi ezeetaagisa okusobola okukola okunoonyereza kuno mu disitulikiti zonna eza Uganda.

Okunoonyereza kuno okwayanjuddwa kwakolebwa mwaka guwedde mu 2017 era kwalaze ng’omutindo gw’abaana okusoma bwiino bwe gulinnye okuva bwe gwali mu 2016.

Kwakoleddwa mu disitulikiti 27 mu Lungereza n’ennimi za Uganda ennansi 11 omuli Oluganda, Olucooli, Olulango, Olusoga, Olukonzo, Olulugwala, Olukalamoja, Runyankole- Rukiga, Runyoro- Rutooro, n’Olumasaaba.

Kwakoleddwa ku bayizi ba P1, P2 ne P3 nga kugeraageranya obusobozi bwabwe mu kusoma mu nnimi zaabwe enzaaliranwa ne mu Lungereza.

Ebyavuddemu byalaze ng’omutindo gulinnye mu kusoma bwiino mu nnimi ennansi era ne mu Lungereza ekyayongedde okunyweza nti omwana bw’ayiga okusoma mu lulimi lwe ayanguyirwa n’okuyiga ennimi endala.

Ebyavudde mu kunoonyereza kuno mu bujjuvu bijja kufulumira mu Essomero ku Mmande.