KCCA eweze okunywa sigala mu Kampala

By Hannington Nkalubo

MINISITULE y’ebyobulamu ne KCCA baweze okunywa taaba oba sigala mu kifo kyonna mu Kampala. N’ebifo ebyali birekeddwa nti omuntu ayinza okwewogomamu n’akommonta babiggyeewo.

Yiga 350x210

Ebifo okuli ebbaala, wooteeri, amasomero, amalwaliro, obutale, ebirabo by’emmere, ppaaka, mu kkubo oba mu kkampuni zonna muwereddwaamu okufuuwa sigala oba ekintu kyonna ekikolebwa mu taaba.

Abakungu okuva mu minisitule y’obulamu, ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ekya World Healthy Organization (WHO) ne KCCA be beegasse ne banjula enteekateeka eno ku sigala.

Dr. Hafsa Lukwata okuva mu minisitule y’ebyobulamu yagambye nti, ne bannannyini bifo nga ebbaala abaleka abantu okumunyweramu bagenda kukwatibwa.

Yategeezezza nti n’ababadde banywa ‘shisha’ nabo bawereddwa.

Yayongeddeko nti, ekibonerezo eri akwatiddwa olw’okufuuwa sigala mu Kampala atanga ssente 200,000/- oba okusibwa emyezi mukaaga oba okukola ebibonerezo byombi.” Dr. Lukwata yategeezezza nti, etteeka okusooka lyali likkirizza okussaawo ebifo naddala mu kkampuni abantu mwe balina okunywera sigala naye kati biwereddwa.

Akulira ebyobulamu mu KCCA Dr. Daniel Okello yategeezezza nti, mu Kampala yenna tewakyali kifo kikkirizibwa kunywerwamu sigala era ebikwekweto bitandise.

Yagambye nti abantu mu ggwanga abawera 204 buli mwezi bafa endwadde ezeekuusa ku kunywa ebintu ebikolebwa mu taaba.

Meeya wa Kampala Central Charles Musoke Sserunjogi yayanirizza okussa etteeka lino mu nkola n’ayongerako nti, ng’ebikwekweto bigenda mu maaso n’okusomesa abantu kugenda kuba kukolebwa.

Abasawo baagambye nti tewali mbeera muntu yenna gy’asobola kwewolereza nti, asobola okugenda mu maaso n’okufuuwa sigala mu kibuga.

Etteeka lino lyayisibwa mu 2005.