Abasuubuzi abaagobeddwa ku luguudo e Mukono baddukidde wa Nambooze

By Musasi wa Bukedde

Abasuubuzi ababade batundira mu kibagirizi ky’oluguudo, abaasendeddwa ebyabwe baddukidde wa mubaka w’ekitundu, Betty Nambooze abasalire amagezi.

Nambooze1 350x210

BYA ERIC YIGA

Mu bano mubaddemu abookya ebyuma, abatunda ennyama y’embizzi, abafumba emmere n’abalala.

Baagenze mu maka ga Nambooze agasangibwa mu Kavule ne bamulombojjera ennaku bye bayitamu.

Omu ku baakoseddwa, Ibrahim Ssebuliba abadde ayokya ebyuma nga y’omu ku baakozseddwa yagambye nti tebaamuwadde kyanya kuggyawo binu bye ne byonoonebwa, era kati tamanyi wa kutandikira.

Baagambye Nambooze nti boolekedde okufa enjala kubanga we babadde baggya ssente baagobeddwaawo.

Nambooze yabeetondedde olw’okulemwa okubategekera bbo ng’abakulembeze n’abagamba nti ne mu bibuga ebyakula abatundira ku nguudo gyebali. Yagambye nti waakusisinkana akulira ekitongole ky’ebyenguudo.