Kadaga ayogedde ne Bobi Wine

By Muwanga Kakooza

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ayigedde n’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ okumala eddakiika kkumi n’amukakasa nti ali bulungi era ajjanjabwa.

Kadagablock 350x210

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ayigedde n’omubaka wa Kyadondo East  Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ okumala eddakiika kkumi n’amukakasa nti ali bulungi era ajjanjabwa.             

Bobi Wine ali mu nkambi y’amagye e Makindye gye yaggaliddwa oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’agambibwa nti yasangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amatteeka.           

Kadaga ali e Botswana mu lukung’ana lwa palamenti y’amawanga ga Africa agali mu luse olumu ne Bungereza yawerezza obubaka n’agamba:

" Njogedde naye okumala eddakiika kkumi n’ankakasa nti ali bulungi era aweebwa obujanjabi,’’