Bobi Wine akyali ku mulamwa - Besigye

By Musasi wa Bukedde

Besigye yagambye nti yabuulidde Bobi Wine nti ye (Besigye) ebbanga ly’amaze ku ludda oluvuganya bamukoze bingi naye n’amugumya nti singa yali mutiitiizi yandibadde yava dda ku mulamwa ogw’okulwanirira demokulaasi.

Whatsappimage20180829at72657pm 350x210

Mu kwanukula Bobi Wine yamutegeezeza, “Dr Besigye ffe tugumira ku ggwe eyasooka okuwakanya embeera Gavumenti gy’etaddewo”, era nti wadde yatulugunyiddwa, akyali mugumu nnyo mu mutima n’okusinga bwe yali nga tannakubwa.

Besigye yasabye Bobi Wine obuteeraliikirira nnyo lw’ajja okusobola okuwona amangu n’eddagala lye bamukuba lisobole okutambula mu mubiri nga wadde akyalina obulumi bungi mu mubiri gwe.

Eggulo we bwawungeeredde, famire ya Bobi Wine baabadde bategeezezza nti, omuntu waabwe agenda mu Amerika okwongera okumujjanjaba naye we twagendedde mu kyapa nga tekinnakakasibwa oba akkiriziddwa okugenda kuba waabaddewo ebyetaagibwa okuli ebbaluwa okuva mu kkooti e Gulu emuwa olukusa luno n’ey’abasawo.