Akakiiko k’ebyokulonda kaweze mbagirawo okuyisa ebivvulu mu nguudo mu biseera bya kampeyini

By Muwanga Kakooza

AKAKIIKO k’ebyokulonda kaweze mbagirawo okuyisa ebivvulu mu nguudo ng’abantu bali mu kampeyini ne kalagira abakwasisa amateeka okussa ekiragiro kino mu nkola.

Cy57lhwqaakbga 350x210

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi ye yawadde ekiragiro kino era n’alabula bannabyabufuzi okukomya okukozesa olulimi olukuma omuliro mu bantu.

‘’Ebintu ebyali mu Arua tetwagala biddemu kubaawo mu ggwanga. Kitukakatako nga Bannayuganda ffena okulaba ng’embeera eno teddawo’’ bwe yagambye.

Bino Byabakama yabitegeezezza ng’ayogera eri bassentebe ba LC1 n’abantu abalala mu kitundu kye Sheema North ekitegeka okulonda kw’okujjuza omubaka wa palamenti okuva abaddewo minisita Elioda Tumwesigye okulekulira. Okulonda kwa October 8.

Tumwesigye yalondeddwa ng’omubaka omupya owa Sheema munisipaali n’alekawo ekya Shema North.

‘’Okuyisa ebivvulu okuva mu kifo awakubirwa enkung’ana kuwereddwa. Enkung’ana bwe ziba ziwedde abantu batambule ssekinomu badde eka era kampeyini zirina kukoma mu bifo we ziba zikubiddwa. Tetusobola kukkiriza muze guno kuddibwamu,’’ bwe yagambye.

Yagambye nti akakiiko kamaze okutegeeza poliisi okukwata bannabyabufuzi abagenda bakuma omuliro mu bantu nga bagenderera okutabula okulonda.

Yagambye nti abantu okuba nga bawagira abantu ab’enjawulo tekikisaanye kubaletera njawukana kulwana.

Yagambye nti akakiiko kagenda kulwanyisa okugulirira abalonzi.