Ssekandi ayambalidde abanenya Gav't ku butayamba bavubuka

By Muwanga Kakooza

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi alabudde abavubuka okwewala Siriimu n’okukozesa ebitamiiza n’ebiragalalagala ebirala n’agamba nti bye bisinze okwonoona obulamu bwabwe ennaku zino.

Vp1 350x210

Ssekandi era yalumbye abanenya gavumenti nti teyambye bavubuka kwekulakulanya n’agamba nti aboogera kino ssi beesimbu oba tebafuddeeyo kumanya kituufu.

Yabadde mu lukung’ana lw’abavubuka ku Kkanisa ya Kampala International Christian Centre e Kyanja mu Kampala. N’agamba nti gavumenti etaddewo pulogulaamu nnyingi ez’okuyamba okulakulanya abavubuka n’okubawa obukugu mu mirimu egitali gimu.

Kwe kuwa eky’okulabirako kya ‘Youth Livelyhood Programme’ gye yagambye nti gavumenti yassaamu obuwumbi 265 nga za kuyamba abavubuka wakati wa 2013 ne 2018.

Yagambye ntu gavumenti ekimanyi nti abavubuka tebalina bukugu bumala kukola bintu bibayimirizaayo era ky’eva efaayo okubayamba.

Yagambye nti abavubuka bayambiddwa okussaawo ebintu ebibayamba okusitula enfuna yabwe  naddala okulaba nga beetandikirawo emirimu.

Yategeezezza nti enkolagana n’abavubuka ne NRM ya byafaayo  era egenderera okulaba ng’abavubuka be bakwata enkasi y’okutwala eggwanga lino maaso.

Yagambye nti ebizibu ebiruma abantu mu maka tebiri mu Uganda wokka . N’gamba nti okusomoozebwa okuli mu nsi kwakulaba ng’abaana n’abavubuka bakuzibwa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa n’agamba nti eddiini y’eyinza okutereeza embeera.

Omusumba w’Ekkanisa eno Boshop Elijah Sebuchu yagambye nti abavubuka 20,000 okuva mu Uganda n’ebweru bagenda kutendekebwa mu bintu ebitali bimu  ng’ebyobusuubuzi,okusoma n’okwewala Siriimu.