URA yakung'aanyizza obuwumbi 27 mu musolo gwa 'Socia Media' ne 'Mobile Money'

By Muwanga Kakooza

URA yakung'aanyizza obuwumbi 27 mu musolo gwa 'Socia Media' ne 'Mobile Money'

Kola1 350x210

EKITONGOLE ekikung’anya emisolo mu ggwanga ( URA) kitegeezezza nti kyakakung’anya  obuwumbi 27 okuva mu misolo emipya okuli ogw’okukozesa ‘yintanenti’ ku ssimu z’omu ngalo n’ogwa ‘mobayiro mane’ mu mwezi gwa July.

Obuwumbi 22 zagyiddwa mu musolo ku ‘mobayiro mane’ ate obuwumbi obukununkiriza mu butaano ne ziggyibwa ku musolo gw’okukozesa yintanenti ku ssimu z’omu ngalo.

Emisolo gyatandika mu July 2018 kyokka abantu ne bakayana okufa nti gibanyigiriza era gikosa ebyenfuna ,ebyenfuna n’okulemesa abantu okuyingirira eddembe ly’okweyogerera.

Abasuubuzi bagamba nti omusolo ku ‘mobayiro mane’ guttattanye bizinensi, era bawa eky’okulabirako nti abantu abakozesa enkola eno bakendeera n’ensimbi ezigiyitamu ne zikendeerako obuwumbi 672 mu July omusolo we gwatandikira,okusinziira ku bbanka enkulu.

Kyokka akulira URA Doris Akol eyabadde ayogerera ku kitebe kya URA ku mukolo gy’okutongoza wiiki y’ebyemisolo enebaawo Sepetember 26- 28  yagambye nti emisolo gino giyambye mu kwongera ku bungi bw’ensimbi zekikunganya era eggwanga lifunyeemu.

‘’Simanyi ssente ze tugenda kukung’anya mu kiseera kino kuba abantu bagenze bakiriza omugaso gw’okugisasula’’ bwe yagambye.

Wiiki  y’ebyemisolo emanyiddwa nga ‘’The Tax Payer Appreciation week’’ egenda kubaawo wakati wa September 26 ne 28 ku kisaawe e Kololo.

Mu nnaku zino ebitongole bya gavumenti ebitali bimu biraga kye bikozeewo ku nsimbi ezibiweebwa gavumenti era abantu bamanyisibwa ku bikolebwa gavumenti. Era abantu ba bulijjo  bajja kufunamu kuba wajja kubaawo okubawa amagezi ku by’amateeka, okubakebera emitima, okukebera ebyapa, okubagema Hepatisis B n’enkaka,okubakebera sickle cell ne kkansa.

Wajja kubaawo ne kawefube w’okusimba emiti obukadde kkumi era ekitongole ky’ebyebibira ekya ‘National Forestry Authority’  kye kigenda okubiwomamu omutwe.