Engeri gye abazigu b'emmundu gye baatemuddemu Kirumira n'omukazi gwe yabadde naye mu mmotoka

By Musasi wa Bukedde

Engeri gye abazigu b'emmundu gye baatemuddemu Kirumira n'omukazi gwe yabadde naye mu mmotoka

131736705311775037218421032422864993791094n 350x210

Eggulo abakambwe b'emmundu baatemudde Afande Kirumira Muhammad, eyali DPC wa Buyende.

Ono yakubiddwa amasasi wamu n'omwala eyategeerekeseeko erya Resty bombi ne baddusibwa mu ddwaaliro e Lubaga nga bakyalimu akassa kyokka oluvannyuma bombi ne bassa ogw'enkomerero.

Kigambibwa abaakubye Kirumira baabadde ku bodaboda era baasoose kuwandagaza masasi mu bbanga mu ngeri ekanga abantu oluvannyuma ne bakuba mmotoka Kirumira mwe yabadde atambulira n'omuwala ono nga bava ku mukolo gw'okwanjula e Nsangi ng'adda Bulenga.

Omuwala gwe basse ne Kirumira abadde mukwano gwe era naye abeera Bulenga.

Pulezidenti Museveni yatuuseeko mu kifo we battidde Kirumira abantu ne bamulaajanira nti 'Mzee abasajja abakambwe b'emmundu batutta batumalawo'.

Oluvannyuma Museveni yalagidde abamu ku baabaddewo nga Kirumira yaakattibwa bayingire mu mmotoka n'avuga ne  yeeyongerayo.