Ebitongole bya gavumenti bigattiddwa ku birala

By Sylvia Zawedde

GAVUMENTI eggyeewo ebimu ku bitongole byayo ne bigattibwa kw’ebyo bwe bibadde bikola emirimu egifaanagana mu kaweefube ow’okwongera okutereeza empeereza y’emirimu n’okukendeeza ku nsaasaanya.

Tumwebaze 350x210

Mu biggyiddwaawo mulimu: eky’enguudo ekya UNRA nga kigenda kugattibwa ku Minisitule ku bitongole byayo ne bigattibwa kw’ebyo bwe bibadde bikola emirimu egifaanagana mu kaweefube ow’okwongera okutereeza empeereza y’emirimu n’okukendeeza ku nsaasaanya.

Mu biggyiddwaawo mulimu: eky’enguudo ekya UNRA nga kigenda kugattibwa ku Minisitule y’ebyenguudo.

Ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa densite ekya NIRA n’ebibiina by’obwannakyewa kyakuyungibwa ku minisitule y’ensonga z’omunda.

Ebirala mulimu ebitongole ebibadde bivunaanyizibwa ku masannyalaze n’okuzimba amabibiro mu ggwanga ekya UEGCL, UETCL ne UEDCL byonna bigenda kuyingizibwa mu minisitule y’ebyobugagga by’omu ttaka.

Ekitongole kya NAADS, eky’amata ekya DDA, eky’emmwaanyi ekya UCDA, ekya ppamba, obulunzi bw’ebisolo, eky’ensigo bya kugenda mu minisitule y’ebyobulimi.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’omusaayi, akawuka ka siriimu byakudda mu minisitule y’ebyobulamu.

Bino byayanjuddwa Minisita wa tekinologiya Frank Tumwebaze mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Media Centre.

Tumwebaze yagambye nti, ebitongole ebigenda okuggyibwawo by’ebyo ebivunaanyizibwa ku mirimu wabula ebitongole by’abakugu byakusigalawo ku mirimu.

Wabula yagambye nti, ebitongole ebyekolera ssente eziddukkanya emirimu gyabyo nga New Vision, Post office byakusigalawo nga bikola emirimu gyabyo nga bwe bibadde.