Eyali muninkiini wa Kaweesi atabuse lwa kumusibira mu nju

By Musasi wa Bukedde

CHRISTINE Mbabazi, w’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, awawaabidde Gavumenti olw’okumusibira awaka okumala omwaka mulamba nga tatambula wadde okugenda mu ddwaaliro.

Mbabazikaweesi1703422 350x210

Bya ALICE NAMUTEBI ne VIVIEN NAKITENDE

Mbabazi ayagala kkooti eragire bamuleke alye butaala, akole emirimu gye n’okulabirira abaana kubanga n’eby’okusoma baabivaako.

Yayise mu munnamateeka we Ladislus Rwakafuzi, omusango n’agutwala mu Kkooti Enkulu gye  yasabye eragire bamutwale mu kkooti bwe wabaawo omusango gwe bamuvunaana.

Mu mpaaba, Mbabazi agamba nti okuva nga September 15, 2017, baamusibira mu nnyumba ye esangibwa e Kosovo, ku biragiro by’akulira ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO, Col. Kaka Bagyenda, nga takkirizibwa kufuluma kukyaza kwogera na baliraanwa wadde ku ssimu wadde okukozesa yintanenti.

Yagambye nti Col. Kaka yalagira bamusibire mu nnyumba kubanga agenda kubeera mujulizi mu musango gw’okutta Kaweesi, oba ye kennyini okuvunaanibwa.

“ Abaana tebakyasoma kubanga bansiba nabo, sso ng’okufuna ekyokulya n’obujjanjabi lutalo lwennyini,” Mbabazi bw’annyonnyola mu mpaaba ye.

Agattako nti enfunda z’asisinkanye pulezidenti Museveni n’abakulu ba poliisi ab’enjawulo, agezezzaako okubannyonnyola nti, Kaweesi yali mukwano gwe, era talina kyamanyi ku bya kufa kwe, naye bagaanye okumuleka. “ Nkooye embeera ey’okunyigirizibwa.

Njagala nfune emirembe n’abaana bange kubanga ISO terina tteeka mwensibira,” Mbabazi bw’awunzika.

Mbabazi yakwatibwa nga kigambibwa nti alina obujulizi ku katambi obulumika abanene abaali mu lukwe lw’okutta Kaweesi, era okuva olwo akuumirwa mu nnyumba.

Ng’omusango tegunnatwalibwa mu kkooti, Dr. Livingstone Ssewanyana, ow’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Foundation for Human Rights Initiative, yategeezezza Bukedde nti:

“Kimenya mateeka okusibira omuntu mu nnyumba ebbanga eryo lyonna nga tawozeseddwa.”

Yagasseeko nti Mbabazi alina eddembe lye ery’okwetaaya ng’okumusibira mu nju babeera balirinnyiridde. “ Ne bw’aba alina omusango alina okusibirwa mu kifo ekimanyiddwa era ekikkirizibwa mu mateeka.

Omuntu yenna bw’akwatibwa ng’ateeberezebwa okuzza omusango, alina okutwalibwa mu kkooti mu ssaawa 48,” Ssewanyana bw’annyonnyola, n’ayongerako nti kimenya mateeka Mbabazi okumala omwaka omulamba nga tavunaaniddwa.

“ Lino ddembe lye lya bwebange erisangibwa mu kawaayiro 44 mu ssemateeka w’eggwanga.